< Zabbuli 135 >

1 Mutendereze Mukama. Mutendereze erinnya lya Mukama. Mumutendereze mmwe abaddu ba Mukama;
הללו-יה הללו את-שם יהוה הללו עבדי יהוה
2 mmwe abaweereza mu nnyumba ya Mukama, mu mpya z’ennyumba ya Katonda waffe.
שעמדים בבית יהוה-- בחצרות בית אלהינו
3 Mutendereze Mukama, kubanga Mukama mulungi; mutendereze erinnya lye kubanga ekyo kisanyusa.
הללו-יה כי-טוב יהוה זמרו לשמו כי נעים
4 Kubanga Mukama yeerondera Yakobo okuba owuwe; ye Isirayiri gwe yeeroboza okuba eky’omuwendo.
כי-יעקב בחר לו יה ישראל לסגלתו
5 Mmanyi nga Mukama mukulu wa kitiibwa, era nga Mukama oyo y’asinga bakatonda bonna.
כי אני ידעתי כי-גדול יהוה ואדנינו מכל-אלהים
6 Mukama kyonna ky’asiima ky’akola, mu ggulu ne ku nsi; mu nnyanja ne mu buziba bwayo.
כל אשר-חפץ יהוה עשה בשמים ובארץ-- בימים וכל-תהמות
7 Alagira ebire ne byekuluumulula okuva ku nkomerero y’ensi; atonnyesa enkuba erimu okumyansa, n’asumulula empewo okuva mu mawanika ge.
מעלה נשאים מקצה הארץ ברקים למטר עשה מוצא-רוח מאוצרותיו
8 Ye yakuba ababereberye ab’e Misiri; ababereberye b’abantu n’ebibereberye by’ebisolo.
שהכה בכורי מצרים-- מאדם עד-בהמה
9 Ye yaweereza obubonero n’ebyewuunyo wakati wo, ggwe Misiri, eri Falaawo n’abaweereza be bonna.
שלח אותת ומפתים--בתוככי מצרים בפרעה ובכל-עבדיו
10 Ye yakuba amawanga amangi, n’atta bakabaka ab’amaanyi era be bano,
שהכה גוים רבים והרג מלכים עצומים
11 Sikoni kabaka w’Abamoli, ne Ogi kabaka w’e Basani ne bakabaka bonna ab’e Kanani.
לסיחון מלך האמרי ולעוג מלך הבשן ולכל ממלכות כנען
12 Ensi yaabwe n’agiwaayo ng’obusika, okuba obusika bw’abantu be Isirayiri.
ונתן ארצם נחלה-- נחלה לישראל עמו
13 Ayi Mukama, erinnya lyo lya lubeerera, era n’obukulu bwo bumanyibwa emirembe gyonna.
יהוה שמך לעולם יהוה זכרך לדר-ודר
14 Kubanga Katonda aliggyako abantu be omusango, era alisaasira abaweereza be.
כי-ידין יהוה עמו ועל-עבדיו יתנחם
15 Abamawanga ebifaananyi byonna ebyole bye basinza, ebyakolebwa n’emikono gy’abantu mu ffeeza ne zaabu,
עצבי הגוים כסף וזהב מעשה ידי אדם
16 birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba;
פה-להם ולא ידברו עינים להם ולא יראו
17 birina amatu naye tebiwulira; so ne mu kamwa kaabyo temuyitamu mukka.
אזנים להם ולא יאזינו אף אין-יש-רוח בפיהם
18 Ababikola balibifaanana; na buli abyesiga alibifaanana.
כמוהם יהיו עשיהם-- כל אשר-בטח בהם
19 Ayi ennyumba ya Isirayiri mutendereze Mukama; mmwe ennyumba ya Alooni mutendereze Mukama.
בית ישראל ברכו את-יהוה בית אהרן ברכו את-יהוה
20 Mmwe ennyumba ya Leevi mutendereze Mukama; mmwe abatya Mukama mutendereze Mukama.
בית הלוי ברכו את-יהוה יראי יהוה ברכו את-יהוה
21 Mukama ali mu Sayuuni yeebazibwe; yeebazibwe oyo abeera mu Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.
ברוך יהוה מציון-- שכן ירושלם הללו-יה

< Zabbuli 135 >