< Zabbuli 134 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Mulabe, mutendereze Mukama, mmwe mwenna abaddu ba Mukama, abaweereza ekiro mu nnyumba ya Mukama.
A Song of degrees. Behold, bless Jehovah, all ye servants of Jehovah, who by night stand in the house of Jehovah.
2 Mugolole emikono gyammwe mu kifo ekitukuvu, mutendereze Mukama.
Lift up your hands in the sanctuary, and bless Jehovah.
3 Mukama eyakola eggulu n’ensi akuwe omukisa ng’asinziira mu Sayuuni.
Jehovah, the maker of heavens and earth, bless thee out of Zion.

< Zabbuli 134 >