< Zabbuli 133 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Laba bwe kiri ekirungi era nga kisanyusa, abooluganda okubeera awamu nga batabaganye.
(다윗의 시. 곧 성전에 올라가는 노래) 형제가 연합하여 동거함이 어찌 그리 선하고 아름다운고
2 Kiri ng’amafuta ag’omuwendo omungi agafukibwa ku mutwe gwa Alooni ne gakulukutira mu kirevu; gakulukutira mu kirevu kya Alooni, ne gakka ku kitogi ky’ebyambalo bye.
머리에 있는 보배로운 기름이 수염 곧 아론의 수염에 흘러서 그 옷깃까지 내림 같고
3 Kiri ng’omusulo gw’oku lusozi Kerumooni, ogugwa ne ku nsozi za Sayuuni; kubanga eyo Mukama gy’agabira omukisa n’obulamu emirembe gyonna.
헐몬의 이슬이 시온의 산들에 내림 같도다 거기서 여호와께서 복을 명하셨니 곧 영생이로다