< Zabbuli 132 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Ayi Mukama jjukira Dawudi n’okubonaabona kwe yagumiikiriza kwonna.
Canticum graduum. Memento Domine David, et omnis mansuetudinis eius:
2 Nga bwe yalayirira Mukama, ne yeeyama eri Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo,
Sicut iuravit Domino, votum vovit Deo Iacob:
3 ng’agamba nti, “Siriyingira mu nnyumba yange, wadde okulinnya ku kitanda kyange.
Si introiero in tabernaculum domus meæ, si ascendero in lectum strati mei:
4 Sirikkiriza tulo kunkwata newaakubadde okuzibiriza amaaso gange,
Si dedero somnum oculis meis, et palpebris meis dormitationem:
5 okutuusa lwe ndimala okufunira Mukama ekifo; ekifo eky’okubeeramu ekya Katonda Ayinzabyonna, Katonda wa Yakobo.”
Et requiem temporibus meis: donec inveniam locum Domino, tabernaculum Deo Iacob.
6 Laba, twakiwulirako mu Efulasa, ne tukizuula mu nnimiro ya Jaali.
Ecce audivimus eam in Ephrata: invenimus eam in campis silvæ.
7 Kale tugende mu kifo kye mw’abeera, tumusinzirize awali entebe y’ebigere bye.
Introibimus in tabernaculum eius: adorabimus in loco, ubi steterunt pedes eius.
8 Golokoka, Ayi Mukama, ogende mu kifo kyo mw’owummulira; ggwe n’Essanduuko yo ey’Endagaano, eraga obuyinza bwo.
Surge Domine in requiem tuam, tu et arca sanctificationis tuæ.
9 Bakabona bo bambazibwe obutuukirivu, n’abatukuvu bo bayimbe n’essanyu.
Sacerdotes tui induantur iustitiam: et sancti tui exultent.
10 Ku lulwe Dawudi omuddu wo, tomugaana oyo gwe wafukako amafuta.
Propter David servum tuum, non avertas faciem Christi tui.
11 Mukama Katonda yalayirira Dawudi ekirayiro ekitaliggwaawo, era talikivaako. Kubanga yamugamba nti, “Omu ku batabani bo gwe ndituuza ku ntebe yo ey’obwakabaka.
Iuravit Dominus David veritatem, et non frustrabitur eam: de fructu ventris tui ponam super sedem tuam.
12 Batabani bo bwe banaakuumanga Endagaano yange n’ebiragiro byange bye nnaabayigirizanga, ne batabani baabwe nabo banaatuulanga ku ntebe yo ey’obwakabaka emirembe gyonna.”
Si custodierint filii tui testamentum meum, et testimonia mea hæc, quæ docebo eos: Et filii eorum usque in sæculum, sedebunt super sedem tuam.
13 Kubanga Mukama yalonda Sayuuni, nga kye yasiima okutuulangamu, n’agamba nti:
Quoniam elegit Dominus Sion: elegit eam in habitationem sibi.
14 “Kino kye kifo mwe nnaawummuliranga emirembe gyonna; omwo mwe nnaatuulanga nga ndi ku ntebe ey’obwakabaka kubanga nkisiimye.
Hæc requies mea in sæculum sæculi: hic habitabo quoniam elegi eam.
15 Nnaakiwanga omukisa ne nkiwa n’ebirungi, era n’abaavu baamu nnaabakkusanga ebyokulya.
Viduam eius benedicens benedicam: pauperes eius saturabo panibus.
16 Bakabona baakyo, obulokozi bunaabanga kyambalo kyabwe; n’abatukuvu baakyo banaayimbanga ennyimba ez’essanyu n’essanyu.
Sacerdotes eius induam salutari: et sancti eius exultatione exultabunt.
17 “Eyo gye ndyaliza batabani ba Dawudi obuyinza; ne muteekerawo ettabaaza olw’oyo gwe nayiwako amafuta.
Illuc producam cornu David, paravi lucernam Christo meo.
18 Abalabe be ndibajjuza ensonyi, naye ye ndimwambaza engule ey’ekitiibwa ekingi.”
Inimicos eius induam confusione: super ipsum autem efflorebit sanctificatio mea.