< Zabbuli 131 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
שִׁיר הַֽמַּֽעֲלוֹת לְדָוִד יְהוָה ׀ לֹא־גָבַהּ לִבִּי וְלֹא־רָמוּ עֵינַי וְלֹֽא־הִלַּכְתִּי ׀ בִּגְדֹלוֹת וּבְנִפְלָאוֹת מִמֶּֽנִּי׃
2 Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
אִם־לֹא שִׁוִּיתִי ׀ וְדוֹמַמְתִּי נַפְשִׁי כְּגָמֻל עֲלֵי אִמּוֹ כַּגָּמֻל עָלַי נַפְשִֽׁי׃
3 Ayi Isirayiri, weesigenga Mukama okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
יַחֵל יִשְׂרָאֵל אֶל־יְהוָה מֵֽעַתָּה וְעַד־עוֹלָֽם׃

< Zabbuli 131 >