1Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Ayi Mukama siri wa malala, so n’amaaso gange tegeegulumiza. Siruubirira bintu binsukiridde newaakubadde ebintu eby’ekitalo ebinsinga.
2Naye ŋŋonzezza emmeeme yange era ngisiriikirizza ng’omwana bw’asiriikirira nga nnyina amuggye ku mabeere. Omwana avudde ku mabeere nga bw’asiriikirira, n’emmeeme yange bw’eri bw’etyo.
אם-לא שויתי ודוממתי-- נפשי כגמל עלי אמו כגמל עלי נפשי