< Zabbuli 13 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Olinneerabira kutuusa ddi, Ayi Mukama? Okutuusa emirembe gyonna? Olikomya ddi okunkweka amaaso go?
大卫的诗,交与伶长。 耶和华啊,你忘记我要到几时呢?要到永远吗? 你掩面不顾我要到几时呢?
2 Okulumwa mu mmeeme yange kulikoma ddi, n’okunyolwa okwa buli lunaku mu mutima gwange kuliggwaamu ddi? Abalabe bange balikomya ddi okumpangulanga nga beegulumiza?
我心里筹算,终日愁苦,要到几时呢? 我的仇敌升高压制我,要到几时呢?
3 Onnyanukule, Ayi Mukama Katonda wange; onzizeemu amaanyi nneme okufa.
耶和华—我的 神啊,求你看顾我,应允我! 使我眼目光明,免得我沉睡至死;
4 Si kulwa ng’omulabe wange yeewaana nti, “Mmuwangudde;” abalabe bange ne bajaguza nga ngudde.
免得我的仇敌说:我胜了他; 免得我的敌人在我摇动的时候喜乐。
5 Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka; era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.
但我倚靠你的慈爱; 我的心因你的救恩快乐。
6 Nnaayimbiranga Mukama, kubanga ankoledde ebirungi.
我要向耶和华歌唱, 因他用厚恩待我。