< Zabbuli 129 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Isirayiri ayogere nti, “Bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange.”
שִׁיר הַֽמַּעֲלוֹת רַבַּת צְרָרוּנִי מִנְּעוּרַי יֹאמַר־נָא יִשְׂרָאֵֽל׃
2 Ddala bambonyaabonyezza nnyo okuva mu buvubuka bwange; naye tebampangudde.
רַבַּת צְרָרוּנִי מִנְּעוּרָי גַּם לֹא־יָכְלוּ לִֽי׃
3 Newaakubadde ng’omugongo gwange gujjudde enkovu olw’embooko ze bankubye era ne gulabika nga kwe bayisizza ekyuma ekirima,
עַל־גַּבִּי חָרְשׁוּ חֹרְשִׁים הֶאֱרִיכוּ (למענותם) [לְמַעֲנִיתָֽם]׃
4 kyokka Mukama mutuukirivu; amenyeemenye enjegere z’abakola ebibi.
יְהֹוָה צַדִּיק קִצֵּץ עֲבוֹת רְשָׁעִֽים׃
5 Abo bonna abakyawa Sayuuni bagobebwe era bazzibweyo emabega nga baswadde.
יֵבֹשׁוּ וְיִסֹּגוּ אָחוֹר כֹּל שֹׂנְאֵי צִיּֽוֹן׃
6 Babeere ng’omuddo ogumera waggulu ku nnyumba, oguwotoka nga tegunnakula.
יִהְיוּ כַּחֲצִיר גַּגּוֹת שֶׁקַּדְמַת שָׁלַף יָבֵֽשׁ׃
7 Omukunguzi tagufaako, n’oyo asiba ebinywa agunyooma.
שֶׁלֹּא מִלֵּא כַפּוֹ קוֹצֵר וְחִצְנוֹ מְעַמֵּֽר׃
8 Wadde abayitawo baleme kwogera nti, “Omukisa gwa Mukama gube ku mmwe. Tubasabidde omukisa mu linnya lya Mukama.”
וְלֹא אָמְרוּ ׀ הָעֹבְרִים בִּרְכַּֽת־יְהֹוָה אֲלֵיכֶם בֵּרַכְנוּ אֶתְכֶם בְּשֵׁם יְהֹוָֽה׃

< Zabbuli 129 >