< Zabbuli 127 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani. Mukama bw’atazimba nnyumba, abo abagizimba bazimbira bwereere. Mukama bw’atakuuma kibuga, abakuumi bateganira bwereere.
A Song of Ascents; of Solomon. Except the LORD build the house, they labour in vain that build it: except the LORD keep the city, the watchman waketh but in vain.
2 Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola, ate n’olwawo n’okwebaka ng’okolerera ekyokulya; kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.
It is vain for you that ye rise up early, and so late take rest, and eat the bread of toil: [for] so he giveth unto his beloved sleep.
3 Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama; era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Lo, children are an heritage of the LORD: [and] the fruit of the womb is [his] reward.
4 Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi, n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
As arrows in the hand of a mighty man, so are the children of youth.
5 Alina omukisa omuntu oyo ajjuzza ensawo ye n’obusaale, kubanga tebaliswazibwa; balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.
Happy is the man that hath his quiver full of them: they shall not be ashamed, when they speak with their enemies in the gate.