< Zabbuli 126 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Mukama bwe yakomyawo abawaŋŋanguse ba Sayuuni, twafaanana ng’abaloota.
A song of ascents. When the LORD restored the captives of Zion, we were like dreamers.
2 Olwo akamwa kaffe ne kajjula enseko, ne nnimi zaffe ne ziyimba ennyimba ez’essanyu. Amawanga ne gagamba nti, “Mukama abakoledde ebikulu.”
Then our mouths were filled with laughter, our tongues with shouts of joy. Then it was said among the nations, “The LORD has done great things for them.”
3 Mukama atukoledde ebikulu, kyetuvudde tusanyuka.
The LORD has done great things for us; we are filled with joy.
4 Otuzze obuggya, Ayi Mukama, tufaanane ng’emigga egikulukutira mu lusenyi.
Restore our captives, O LORD, like streams in the Negev.
5 Abo abasiga nga bakaaba amaziga, baliyimba ennyimba ez’essanyu nga bakungula.
Those who sow in tears will reap with shouts of joy.
6 Oyo agenda ng’akaaba ng’atwala ensigo okusiga; alikomawo ng’ayimba ennyimba ez’essanyu ng’aleeta ebinywa bye.
He who goes out weeping, bearing a trail of seed, will surely return with shouts of joy, carrying sheaves of grain.