< Zabbuli 125 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Abeesiga Mukama bali ng’olusozi Sayuuni olutayinza kusiguukululwa, naye olubeerawo emirembe gyonna.
A Song of degrees. They that trust in the LORD shall be as mount Zion, which cannot be removed, but abideth for ever.
2 Ensozi nga bwe zeetooloola Yerusaalemi, ne Mukama bw’atyo bwe yeetooloola abantu be, okuva kaakano n’okutuusa emirembe gyonna.
As the mountains surround Jerusalem, so the LORD surroundeth his people from henceforth even for ever.
3 Kubanga abafuzi abakola ebibi tebalifugira mu nsi y’abatuukirivu, baleme okuwaliriza abatuukirivu okukola ebibi.
For the rod of the wicked shall not rest upon the lot of the righteous; lest the righteous put forth their hands to iniquity.
4 Ayi Mukama, abalungi n’abo abalina omutima omulongoofu bakolere ebirungi.
Do good, O LORD, to those that are good, and to them that are upright in their hearts.
5 Naye abo abalaga mu makubo gaabwe amakyamu, Mukama alibawaŋŋangusa wamu n’abakola ebitali bya butuukirivu. Emirembe gibe ku Isirayiri.
As for such as turn aside to their crooked ways, the LORD shall lead them forth with the workers of iniquity: but peace shall be upon Israel.