< Zabbuli 124 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Isirayiri agamba nti, singa Katonda teyali ku ludda lwaffe,
שיר המעלות לדוד לולי יהוה שהיה לנו יאמר נא ישראל׃
2 singa Katonda teyali ku ludda lwaffe abalabe baffe bwe baatulumba,
לולי יהוה שהיה לנו בקום עלינו אדם׃
3 banditusaanyizzaawo mu kaseera buseera, obusungu bwabwe bwe bwatubuubuukirako.
אזי חיים בלעונו בחרות אפם בנו׃
4 Amataba g’obusungu bwabwe ganditusaanyizzaawo, ne mukoka n’atukulukutirako;
אזי המים שטפונו נחלה עבר על נפשנו׃
5 amazzi ag’obusungu bwabwe agayira ganditukuluggusizza.
אזי עבר על נפשנו המים הזידונים׃
6 Mukama atenderezebwe atatugabuddeeyo ne tutaagulwataagulwa amannyo gaabwe.
ברוך יהוה שלא נתננו טרף לשניהם׃
7 Tuwonye ng’ekinyonyi bwe kiva ku mutego gw’abatezi; omutego gukutuse, naffe tuwonye!
נפשנו כצפור נמלטה מפח יוקשים הפח נשבר ואנחנו נמלטנו׃
8 Okubeerwa kwaffe kuli mu linnya lya Mukama, eyakola eggulu n’ensi.
עזרנו בשם יהוה עשה שמים וארץ׃

< Zabbuli 124 >