< Zabbuli 123 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange gy’oli, Ayi ggwe atuula ku ntebe ey’obwakabaka mu ggulu.
A song of degrees. I lift vp mine eyes to thee, that dwellest in the heauens.
2 Amaaso g’abaddu nga bwe gatunuulira omukono gwa mukama waabwe; n’amaaso g’omuweereza omukazi nga bwe gatunuulira omukono gwa mugole we, n’amaaso gaffe bwe gatyo bwe gatunuulira Mukama Katonda waffe, okutuusa lw’alitusaasira.
Behold, as the eyes of seruants looke vnto the hand of their masters, and as the eyes of a mayden vnto the hand of her mistres: so our eyes waite vpon the Lord our God vntil he haue mercie vpon vs.
3 Tusaasire, Ayi Mukama, tusaasire, kubanga tunyoomeddwa nnyo ddala.
Haue mercie vpon vs, O Lord, haue mercie vpon vs: for we haue suffered too much contempt.
4 Emitima gyaffe gijjudde ennaku olw’okuduulirwa abo abeeyagala, n’okunyoomebwa ab’amalala.
Our soule is filled too full of ye mocking of the wealthy, and of the despitefulnes of the proude.