< Zabbuli 122 >
1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi. Nasanyuka bwe baŋŋamba nti, “Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
大卫上行之诗。 人对我说:我们往耶和华的殿去, 我就欢喜。
2 Ebigere byaffe biyimiridde mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
耶路撒冷啊, 我们的脚站在你的门内。
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
耶路撒冷被建造, 如同连络整齐的一座城。
4 Eyo ebika byonna gye biraga, ebika bya Mukama, okutendereza erinnya lya Mukama ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
众支派,就是耶和华的支派,上那里去, 按以色列的常例称赞耶和华的名。
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa; z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
因为在那里设立审判的宝座, 就是大卫家的宝座。
6 Musabirenga Yerusaalemi emirembe: “Abo abakwagala bafune ebirungi.
你们要为耶路撒冷求平安! 耶路撒冷啊,爱你的人必然兴旺!
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo; n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
愿你城中平安! 愿你宫内兴旺!
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
因我弟兄和同伴的缘故,我要说: 愿平安在你中间!
9 Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
因耶和华—我们 神殿的缘故, 我要为你求福!