< Zabbuli 121 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Nnyimusa amaaso gange eri ensozi, okubeerwa kwange kuva wa?
שיר למעלות אשא עיני אל ההרים מאין יבא עזרי׃
2 Okubeerwa kwange kuva eri Mukama, eyakola eggulu n’ensi.
עזרי מעם יהוה עשה שמים וארץ׃
3 Taliganya kigere kyo kusagaasagana; oyo akukuuma taabongootenga.
אל יתן למוט רגלך אל ינום שמרך׃
4 Laba, oyo akuuma Isirayiri taabongootenga so teyeebakenga.
הנה לא ינום ולא יישן שומר ישראל׃
5 Mukama ye mukuumi wo; Mukama y’akusiikiriza ku mukono gwo ogwa ddyo;
יהוה שמרך יהוה צלך על יד ימינך׃
6 emisana enjuba teekwokyenga, wadde omwezi ekiro.
יומם השמש לא יככה וירח בלילה׃
7 Mukama anaakukuumanga mu buli kabi; anaalabiriranga obulamu bwo.
יהוה ישמרך מכל רע ישמר את נפשך׃
8 Mukama anaakukumanga amagenda go n’amadda, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna.
יהוה ישמר צאתך ובואך מעתה ועד עולם׃

< Zabbuli 121 >