< Zabbuli 120 >

1 Oluyimba nga balinnya amadaala. Nkoowoola Mukama nga ndi mu nnaku, era n’annyanukula.
われ困苦にあひてヱホバをよびしかば我にこたへたまへり
2 Omponye, Ayi Mukama, emimwa egy’obulimba, n’olulimi olw’obukuusa.
ヱホバよねがはくは虚偽のくちびる欺詐の舌よりわが霊魂をたすけいだしたまへ
3 Onooweebwa ki, era onookolebwa otya, ggwe olulimi olukuusa?
あざむきの舌よなんぢに何をあたへられ 何をくはへらるべきか
4 Onoofumitibwa n’obusaale obwogi obw’omulwanyi omuzira, n’oyokerwa ku manda ag’omuti entaseesa.
ますらをの利き箭と金萑花のあつき炭となり
5 Ndabye ennaku, kubanga mbeera mu Meseki; nsula mu weema za Kedali!
わざはひなるかな我はメセクにやどりケダルの幕屋のかたはらに住めり
6 Ndudde nnyo mu bantu abakyawa eddembe.
わがたましひは平安をにくむものと偕にすめり
7 Nze njagala mirembe, naye bwe njogera bo baagala ntalo.
われは平安をねがふ されど我ものいふときにかれら戰爭をこのむ

< Zabbuli 120 >