< Zabbuli 119 >

1 Balina omukisa abo abatambulira mu butuukirivu; abatambulira mu mateeka ga Mukama.
אשרי תמימי דרך ההלכים בתורת יהוה׃
2 Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye, era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
אשרי נצרי עדתיו בכל לב ידרשוהו׃
3 Abo abatasobya, era abatambulira mu makubo ge.
אף לא פעלו עולה בדרכיו הלכו׃
4 Ggwe wateekawo ebiragiro byo; n’olagira bigonderwenga n’obwegendereza bungi.
אתה צויתה פקדיך לשמר מאד׃
5 Ayi Mukama, nsaba mbeerenga munywevu bulijjo; nga nkuuma bye walagira.
אחלי יכנו דרכי לשמר חקיך׃
6 Bwe ntyo siriswazibwa, amaaso gange nga ngasimbye ku ebyo bye walagira byonna.
אז לא אבוש בהביטי אל כל מצותיך׃
7 Nga njiga ebiragiro byo ebitukuvu, nnaakutenderezanga n’omutima omulungi.
אודך בישר לבב בלמדי משפטי צדקך׃
8 Nnaakwatanga amateeka go; Ayi Mukama, tonsuulira ddala.
את חקיך אשמר אל תעזבני עד מאד׃
9 Omuvubuka anaakuumanga atya ekkubo lye nga ttereevu? Anaalikuumanga ng’agoberera ekigambo kyo nga bwe kiri.
במה יזכה נער את ארחו לשמר כדברך׃
10 Nkunoonya n’omutima gwange gwonna; tonzikiriza kuva ku mateeka go.
בכל לבי דרשתיך אל תשגני ממצותיך׃
11 Ntadde ekigambo kyo mu mutima gwange; ndyoke nneme okwonoona.
בלבי צפנתי אמרתך למען לא אחטא לך׃
12 Ogulumizibwe, Ayi Mukama; onjigirize amateeka go.
ברוך אתה יהוה למדני חקיך׃
13 Njatula n’akamwa kange amateeka go gonna ge walagira.
בשפתי ספרתי כל משפטי פיך׃
14 Nsanyukira okugondera ebiragiro byo, ng’asanyukira eby’obugagga.
בדרך עדותיך ששתי כעל כל הון׃
15 Nnaafumiitirizanga ku biragiro byo, ne nzisaayo omwoyo ku makubo go.
בפקדיך אשיחה ואביטה ארחתיך׃
16 Nnaasanyukiranga amateeka go, era siigeerabirenga.
בחקתיך אשתעשע לא אשכח דברך׃
17 Omuddu wo omukolere ebirungi, mbe omulamu, ngobererenga ekigambo kyo.
גמל על עבדך אחיה ואשמרה דברך׃
18 Ozibule amaaso gange, nsobole okulaba eby’ekitalo ebiri mu mateeka go.
גל עיני ואביטה נפלאות מתורתך׃
19 Nze ndi muyise ku nsi; tonkisa bye walagira.
גר אנכי בארץ אל תסתר ממני מצותיך׃
20 Bulijjo emmeeme yange eyaayaanira amateeka go.
גרסה נפשי לתאבה אל משפטיך בכל עת׃
21 Onenya ab’amalala, abaakolimirwa, abaleka amateeka go.
גערת זדים ארורים השגים ממצותיך׃
22 Mponya okuduula kwabwe n’okunyooma kwabwe; kubanga bye walagira mbigondera.
גל מעלי חרפה ובוז כי עדתיך נצרתי׃
23 Newaakubadde ng’abalangira bansalira enkwe; naye nze, omuweereza wo, nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
גם ישבו שרים בי נדברו עבדך ישיח בחקיך׃
24 Amateeka go lye ssanyu lyange, era ge gannuŋŋamya.
גם עדתיך שעשעי אנשי עצתי׃
25 Nzigweddemu amaanyi, ndi wansi mu nfuufu; nkusaba onzizeemu endasi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
דבקה לעפר נפשי חיני כדברך׃
26 Nakutegeeza bye nteesezza okukola, n’onnyanukula; onjigirize amateeka go.
דרכי ספרתי ותענני למדני חקיך׃
27 Njigiriza amateeka go bye gagamba, nange nnaafumiitirizanga ku byamagero byo.
דרך פקודיך הבינני ואשיחה בנפלאותיך׃
28 Emmeeme empweddemu ensa olw’okunakuwala; onzizeemu amaanyi ng’ekigambo kyo bwe kiri.
דלפה נפשי מתוגה קימני כדברך׃
29 Nzigiraako ddala ebyo ebitali bya butuukirivu; olw’ekisa kyo njigiriza amateeka go.
דרך שקר הסר ממני ותורתך חנני׃
30 Nonzeewo okubeera omwesigwa; ntambulire mu ebyo bye walagira.
דרך אמונה בחרתי משפטיך שויתי׃
31 Nnyweredde ku biragiro byo, Ayi Mukama, tondeka kuswazibwa.
דבקתי בעדותיך יהוה אל תבישני׃
32 Bw’onoosumulula omutima gwange, nnaatambuliranga mu makubo go ng’ebiragiro byo bwe biri.
דרך מצותיך ארוץ כי תרחיב לבי׃
33 Njigiriza, Ayi Mukama, okugonderanga ebiragiro byo; ndyoke mbinywezenga ennaku zonna ez’obulamu bwange.
הורני יהוה דרך חקיך ואצרנה עקב׃
34 Mpa okutegeera ndyoke nkuume amateeka go era ngakwate n’omutima gwange gwonna.
הבינני ואצרה תורתך ואשמרנה בכל לב׃
35 Ntambuliza mu mateeka go, kubanga mwe nsanyukira.
הדריכני בנתיב מצותיך כי בו חפצתי׃
36 Okyuse omutima gwange ogulaze eri ebyo bye walagira; so si eri eby’okufuna ebitaliimu.
הט לבי אל עדותיך ואל אל בצע׃
37 Kyusa amaaso gange galeme okunneegombesa ebitaliimu; obulamu bwange obufuule obuggya ng’ekigambo kyo bwe kiri.
העבר עיני מראות שוא בדרכך חיני׃
38 Tuukiriza kye wasuubiza omuddu wo, kubanga ekyo kye wasuubiza abo abakutya.
הקם לעבדך אמרתך אשר ליראתך׃
39 Nziggyako okunyoomebwa kuno kwe ntya, kubanga ebiragiro byo birungi.
העבר חרפתי אשר יגרתי כי משפטיך טובים׃
40 Laba, njayaanira ebiragiro byo; onkomyewo mu butuukirivu bwo.
הנה תאבתי לפקדיך בצדקתך חיני׃
41 Okwagala kwo okutaggwaawo kujje gye ndi, Ayi Mukama; ompe obulokozi bwo nga bwe wasuubiza;
ויבאני חסדך יהוה תשועתך כאמרתך׃
42 ndyoke mbeere n’eky’okwanukula abo abambonyaabonya; kubanga neesiga kigambo kyo.
ואענה חרפי דבר כי בטחתי בדברך׃
43 Toganya kigambo ekitali kya mazima okuva mu kamwa kange; kubanga essuubi lyange liri mu ebyo bye walagira.
ואל תצל מפי דבר אמת עד מאד כי למשפטך יחלתי׃
44 Nnaagonderanga amateeka go ennaku zonna, emirembe n’emirembe.
ואשמרה תורתך תמיד לעולם ועד׃
45 Era nnaatambulanga n’emirembe, kubanga ngoberedde ebyo bye walagira.
ואתהלכה ברחבה כי פקדיך דרשתי׃
46 Era nnaayogeranga ku biragiro by’omu maaso ga bakabaka, nga sikwatibwa nsonyi.
ואדברה בעדתיך נגד מלכים ולא אבוש׃
47 Kubanga nsanyukira amateeka go, era ngaagala.
ואשתעשע במצותיך אשר אהבתי׃
48 Nzisaamu nnyo ekitiibwa ebiragiro byo era mbyagala. Nnaafumiitirizanga ku mateeka go.
ואשא כפי אל מצותיך אשר אהבתי ואשיחה בחקיך׃
49 Jjukira ekigambo kye wansuubiza, nze omuddu wo, kubanga gwe wampa essuubi.
זכר דבר לעבדך על אשר יחלתני׃
50 Ekiwummuza omutima gwange nga ndi mu bulumi kye kisuubizo kyo ekimpa obulamu.
זאת נחמתי בעניי כי אמרתך חיתני׃
51 Ab’amalala banduulira obutamala, naye nze siva ku mateeka go.
זדים הליצני עד מאד מתורתך לא נטיתי׃
52 Bwe ndowooza ku biragiro byo eby’edda, Ayi Mukama, biwummuza omutima gwange.
זכרתי משפטיך מעולם יהוה ואתנחם׃
53 Nkyawa nnyo abakola ebibi, abaleka amateeka go.
זלעפה אחזתני מרשעים עזבי תורתך׃
54 Ebiragiro byo binfuukidde ennyimba buli we nsula nga ndi mu lugendo lwange.
זמרות היו לי חקיך בבית מגורי׃
55 Mu kiro nzijukira erinnya lyo, Ayi Mukama, ne neekuuma amateeka go.
זכרתי בלילה שמך יהוה ואשמרה תורתך׃
56 Olw’okukugonderanga nfunye emikisa gyo mingi.
זאת היתה לי כי פקדיך נצרתי׃
57 Ggwe mugabo gwange, Ayi Mukama; nasuubiza okukugonderanga.
חלקי יהוה אמרתי לשמר דבריך׃
58 Nkwegayirira n’omutima gwange gwonna, ondage ekisa kyo nga bwe wasuubiza.
חליתי פניך בכל לב חנני כאמרתך׃
59 Bwe ndabye amakubo amakyamu ge nkutte, ne nkyuka okugoberera ebiragiro byo.
חשבתי דרכי ואשיבה רגלי אל עדתיך׃
60 Nyanguwa nnyo okugondera amateeka go, so seekunya.
חשתי ולא התמהמהתי לשמר מצותיך׃
61 Newaakubadde ng’emiguwa gy’ababi ginsibye, naye seerabirenga mateeka go.
חבלי רשעים עודני תורתך לא שכחתי׃
62 Nzuukuka mu ttumbi okukwebaza, olw’ebiragiro byo ebituukirivu.
חצות לילה אקום להודות לך על משפטי צדקך׃
63 Ntambula n’abo abakutya, abo bonna abakwata amateeka go.
חבר אני לכל אשר יראוך ולשמרי פקודיך׃
64 Ensi, Ayi Mukama, ejjudde okwagala kwo; onjigirize amateeka go.
חסדך יהוה מלאה הארץ חקיך למדני׃
65 Okoze bulungi omuddu wo, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
טוב עשית עם עבדך יהוה כדברך׃
66 Njigiriza okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi, era ompe okumanya; kubanga nzikiririza mu mateeka go.
טוב טעם ודעת למדני כי במצותיך האמנתי׃
67 Bwe wali tonnambonereza nakyama nnyo, naye kaakano ŋŋondera ekigambo kyo.
טרם אענה אני שגג ועתה אמרתך שמרתי׃
68 Ayi Mukama, oli mulungi era okola ebirungi; onjigirize amateeka go.
טוב אתה ומטיב למדני חקיך׃
69 Ab’amalala banjogeddeko nnyo eby’obulimba, naye nze nkwata ebyo bye walagira, n’omutima gwange gwonna.
טפלו עלי שקר זדים אני בכל לב אצר פקודיך׃
70 Omutima gwabwe gugezze ne gusavuwala; naye nze nsanyukira amateeka go.
טפש כחלב לבם אני תורתך שעשעתי׃
71 Okubonerezebwa kwangasa, ndyoke njige amateeka go.
טוב לי כי עניתי למען אלמד חקיך׃
72 Amateeka go ge walagira ga mugaso nnyo gye ndi okusinga enkumi n’enkumi eza ffeeza ne zaabu.
טוב לי תורת פיך מאלפי זהב וכסף׃
73 Emikono gyo gye gyankola ne gimmumba, mpa okutegeera ndyoke njige amateeka go.
ידיך עשוני ויכוננוני הבינני ואלמדה מצותיך׃
74 Abo abakutya banandabanga ne basanyuka, kubanga essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
יראיך יראוני וישמחו כי לדברך יחלתי׃
75 Mmanyi, Ayi Mukama, ng’amateeka go matukuvu, era wali mutuufu okumbonereza.
ידעתי יהוה כי צדק משפטיך ואמונה עניתני׃
76 Kale okwagala kwo okutaggwaawo kumbeere kumpi kunsanyuse, nga bwe wansuubiza, nze omuddu wo.
יהי נא חסדך לנחמני כאמרתך לעבדך׃
77 Kkiriza okusaasira kwo kuntuukeko ndyoke mbeere mulamu; kubanga mu mateeka go mwe nsanyukira.
יבאוני רחמיך ואחיה כי תורתך שעשעי׃
78 Ab’amalala baswazibwe, kubanga bampisizza bubi nga siriiko kye nkoze. Naye nze nnaafumiitirizanga ku biragiro byo.
יבשו זדים כי שקר עותוני אני אשיח בפקודיך׃
79 Abo abakutya bajje gye ndi, abategeera amateeka go.
ישובו לי יראיך וידעו עדתיך׃
80 Mbeera, omutima gwange guleme kubaako kya kunenyezebwa mu mateeka go, nneme kuswazibwa!
יהי לבי תמים בחקיך למען לא אבוש׃
81 Emmeeme yange erumwa nnyo ennyonta ng’eyaayaanira obulokozi bwo, essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
כלתה לתשועתך נפשי לדברך יחלתי׃
82 Ntunuulidde ebbanga ddene n’amaaso gange ne ganfuuyirira nga nninda okutuukirira kw’ekisuubizo kyo; ne neebuuza nti, “Olinsanyusa ddi?”
כלו עיני לאמרתך לאמר מתי תנחמני׃
83 Newaakubadde nga nfuuse ng’ensawo ey’eddiba, eya wayini eri mu mukka, naye seerabira bye walagira.
כי הייתי כנאד בקיטור חקיך לא שכחתי׃
84 Ayi Mukama, nze omuddu wo nnaalindirira kutuusa ddi nga tonnabonereza abo abanjigganya?
כמה ימי עבדך מתי תעשה ברדפי משפט׃
85 Abantu ab’amalala abatatya Katonda bansimidde ebinnya mu kkubo; be bo abatagondera mateeka go.
כרו לי זדים שיחות אשר לא כתורתך׃
86 Amateeka go gonna geesigibwa; abo abatakwagala banjigganyiza bwereere; nkusaba onnyambe!
כל מצותיך אמונה שקר רדפוני עזרני׃
87 Baali kumpi okunzikiririza ddala ku nsi kuno; naye nze sivudde ku ebyo bye walagira.
כמעט כלוני בארץ ואני לא עזבתי פקודיך׃
88 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo ndekera obulamu bwange, ndyoke nkuume ebyo bye walagira ebiva mu kamwa ko.
כחסדך חיני ואשמרה עדות פיך׃
89 Ayi Mukama, Ekigambo kyo kinywevu mu ggulu, kya mirembe gyonna.
לעולם יהוה דברך נצב בשמים׃
90 Obwesigwa bwo tebuggwaawo emirembe gyonna; watonda ensi era enyweredde ddala.
לדר ודר אמונתך כוננת ארץ ותעמד׃
91 Amateeka go na buli kati manywevu; kubanga ebintu byonna bikuweereza.
למשפטיך עמדו היום כי הכל עבדיך׃
92 Singa nnali sisanyukira mu mateeka go, nandizikiridde olw’obulumi bwe nalimu.
לולי תורתך שעשעי אז אבדתי בעניי׃
93 Siyinza kwerabira biragiro byo; kubanga mu ebyo obulamu bwange mw’obufuulidde obuggya.
לעולם לא אשכח פקודיך כי בם חייתני׃
94 Ndi wuwo, ndokola, kubanga neekuumye bye walagira.
לך אני הושיעני כי פקודיך דרשתי׃
95 Newaakubadde ng’abakola ebibi beekukumye nga banteeze okunzikiriza; naye nze nyweredde ku ebyo bye walagira.
לי קוו רשעים לאבדני עדתיך אתבונן׃
96 Ebintu byonna biriko we bikoma naye amateeka go tegakugirwa.
לכל תכלה ראיתי קץ רחבה מצותך מאד׃
97 Amateeka go nga ngagala nnyo! Ngafumiitirizaako olunaku lwonna.
מה אהבתי תורתך כל היום היא שיחתי׃
98 Amateeka go ganfuula mugezi okusinga abalabe bange, kubanga ge gannuŋŋamya bulijjo.
מאיבי תחכמני מצותך כי לעולם היא לי׃
99 Ntegeera okusinga abasomesa bange bonna, kubanga nfumiitiriza nnyo ebyo bye walagira.
מכל מלמדי השכלתי כי עדותיך שיחה לי׃
100 Ntegeera okusinga abakadde; kubanga ŋŋondera ebyo bye walagira.
מזקנים אתבונן כי פקודיך נצרתי׃
101 Neekuumye obutatambulira mu kkubo lyonna ekyamu, nsobole okugondera ekigambo kyo.
מכל ארח רע כלאתי רגלי למען אשמר דברך׃
102 Sivudde ku mateeka go, kubanga ggwe waganjigiriza.
ממשפטיך לא סרתי כי אתה הורתני׃
103 Ebisuubizo byo nga bimpoomera nnyo! Biwoomera akamwa kange okusinga omubisi gw’enjuki.
מה נמלצו לחכי אמרתך מדבש לפי׃
104 Mu biragiro byo mwe nfunira okutegeera; kyenva nkyawa ekkubo lyonna ekyamu.
מפקודיך אתבונן על כן שנאתי כל ארח שקר׃
105 Ekigambo kyo ye ttaala eri ebigere byange, era kye kimulisa ekkubo lyange.
נר לרגלי דברך ואור לנתיבתי׃
106 Ndayidde ekirayiro era nkikakasizza nga nnaakwatanga amateeka ag’obutuukirivu bwo.
נשבעתי ואקימה לשמר משפטי צדקך׃
107 Nnumizibwa nnyo; nzizaamu obulamu, Ayi Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.
נעניתי עד מאד יהוה חיני כדברך׃
108 Okkirize Ayi Mukama ettendo akamwa kange lye kakuwa; era onjigirize amateeka go.
נדבות פי רצה נא יהוה ומשפטיך למדני׃
109 Newaakubadde ng’obulamu bwange ntera okubutambuza nga bwe njagala, naye seerabira mateeka go.
נפשי בכפי תמיד ותורתך לא שכחתי׃
110 Abakola ebibi banteze omutego, naye sikyamye kuva ku ebyo bye walagira.
נתנו רשעים פח לי ומפקודיך לא תעיתי׃
111 Ebiragiro byo gwe mugabo gwange emirembe gyonna; weewaawo, ebyo bye bisanyusa omutima gwange.
נחלתי עדותיך לעולם כי ששון לבי המה׃
112 Omutima gwange gweteeseteese okukwatanga ebiragiro byo ennaku zonna ez’obulamu bwange.
נטיתי לבי לעשות חקיך לעולם עקב׃
113 Nkyawa abalina emitima egisagaasagana, naye nze njagala amateeka go.
סעפים שנאתי ותורתך אהבתי׃
114 Ggwe kiddukiro kyange era ggwe ngabo yange; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
סתרי ומגני אתה לדברך יחלתי׃
115 Muve we ndi mmwe abakola ebitali bya butuukirivu, mundeke nkwate ebiragiro bya Katonda wange.
סורו ממני מרעים ואצרה מצות אלהי׃
116 Onnyweze nga bwe wasuubiza, ndyoke mbeere omulamu; nneme kuswazibwa ne nzigwamu essuubi.
סמכני כאמרתך ואחיה ואל תבישני משברי׃
117 Onnyweze ndyoke nfuuke ow’eddembe, era nkwatenga ebiragiro byo bulijjo.
סעדני ואושעה ואשעה בחקיך תמיד׃
118 Onyooma abo bonna abaleka ebiragiro byo; weewaawo obugezigezi bwabwe tebuliimu kantu.
סלית כל שוגים מחקיך כי שקר תרמיתם׃
119 Abakola ebibi bonna mu nsi obalaba ng’ebisasiro; nze kyenva njagala ebyo bye walagira.
סגים השבת כל רשעי ארץ לכן אהבתי עדתיך׃
120 Nkankana nzenna nga nkutya, era ntya amateeka go.
סמר מפחדך בשרי וממשפטיך יראתי׃
121 Nkoze eby’obwenkanya era eby’obutuukirivu; tondeka mu mikono gy’abo abanjooga.
עשיתי משפט וצדק בל תניחני לעשקי׃
122 Okakase okundaganga ekisa kyo bulijjo, oleme kukkiriza ababi okunjooganga.
ערב עבדך לטוב אל יעשקני זדים׃
123 Amaaso gange ganfuuyiririra, nga nnindirira obulokozi bwo n’ebyo bye wasuubiza mu butuukirivu bwo.
עיני כלו לישועתך ולאמרת צדקך׃
124 Nze omuddu wo nkolaako ng’okwagala kwo bwe kuli; era onjigirize amateeka go.
עשה עם עבדך כחסדך וחקיך למדני׃
125 Ndi muddu wo, mpa okwawula ekirungi n’ekibi; ndyoke ntegeere ebiragiro byo.
עבדך אני הבינני ואדעה עדתיך׃
126 Ekiseera kituuse, Ayi Mukama, okubaako ky’okola, kubanga amateeka go gamenyeddwa.
עת לעשות ליהוה הפרו תורתך׃
127 Naye nze njagala amateeka go okusinga zaabu, wadde zaabu omulongoose.
על כן אהבתי מצותיך מזהב ומפז׃
128 Kubanga mmanyi ng’ebiragiro byo byonna bituufu; nkyawa buli kkubo lyonna ekyamu.
על כן כל פקודי כל ישרתי כל ארח שקר שנאתי׃
129 Ebiragiro byo bya kitalo; kyenva mbigondera.
פלאות עדותיך על כן נצרתם נפשי׃
130 Ebigambo byo bwe binnyonnyolwa bireeta omusana; n’atategeera bulungi bimugeziwaza.
פתח דבריך יאיר מבין פתיים׃
131 Njasamya akamwa kange ne mpejjawejja nga njaayaanira amateeka go.
פי פערתי ואשאפה כי למצותיך יאבתי׃
132 Nkyukira, onkwatirwe ekisa, nga bw’okolera bulijjo abo abaagala erinnya lyo.
פנה אלי וחנני כמשפט לאהבי שמך׃
133 Oluŋŋamye ebigere byange ng’ekigambo kyo bwe kiri, era tokkiriza kibi kyonna kunfuga.
פעמי הכן באמרתך ואל תשלט בי כל און׃
134 Mponya okujooga kw’abantu, bwe ntyo nkwatenga ebiragiro byo.
פדני מעשק אדם ואשמרה פקודיך׃
135 Ontunuulire, nze omuddu wo, n’amaaso ag’ekisa, era onjigirizenga amateeka go.
פניך האר בעבדך ולמדני את חקיך׃
136 Amaziga gakulukuta mu maaso gange ng’omugga, olw’abo abatakwata mateeka go.
פלגי מים ירדו עיני על לא שמרו תורתך׃
137 Oli mutuukirivu, Ayi Katonda, era amateeka go matuufu.
צדיק אתה יהוה וישר משפטיך׃
138 Ebiragiro byo bye wateekawo bituukirivu, era byesigibwa.
צוית צדק עדתיך ואמונה מאד׃
139 Nnyiikadde nnyo munda yange, olw’abalabe bange abatassaayo mwoyo eri ebiragiro byo.
צמתתני קנאתי כי שכחו דבריך צרי׃
140 Ebisuubizo byo byetegerezebwa nnyo, kyenva mbyagala.
צרופה אמרתך מאד ועבדך אהבה׃
141 Newaakubadde ndi muntu wa bulijjo era anyoomebwa, naye seerabira biragiro byo.
צעיר אנכי ונבזה פקדיך לא שכחתי׃
142 Obutuukirivu bwo bwa lubeerera, n’amateeka go ga mazima.
צדקתך צדק לעולם ותורתך אמת׃
143 Newaakubadde nga ndi mu kulumwa n’okutegana okungi, amateeka go ge gansanyusa.
צר ומצוק מצאוני מצותיך שעשעי׃
144 Ebiragiro byo bituufu emirembe gyonna; onjigirize okubitegeera ndyoke mbeere omulamu.
צדק עדותיך לעולם הבינני ואחיה׃
145 Nkoowoola n’omutima gwange gwonna, Ayi Mukama, onnyanukule! Nnaagonderanga amateeka go.
קראתי בכל לב ענני יהוה חקיך אצרה׃
146 Nkukaabirira, ondokole, nkwate ebiragiro byo.
קראתיך הושיעני ואשמרה עדתיך׃
147 Ngolokoka bunatera okukya ne nkukaabirira onnyambe; essuubi lyange liri mu kigambo kyo.
קדמתי בנשף ואשועה לדבריך יחלתי׃
148 Seebaka ekiro kyonna nga nfumiitiriza ku ebyo bye wasuubiza.
קדמו עיני אשמרות לשיח באמרתך׃
149 Olw’okwagala kwo okutaggwaawo wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, ompe obulamu obuggya ng’amateeka go bwe gali.
קולי שמעה כחסדך יהוה כמשפטך חיני׃
150 Abo ab’enkwe era abatakwata mateeka go bansemberedde, kyokka bali wala n’amateeka go.
קרבו רדפי זמה מתורתך רחקו׃
151 Naye ggwe, Ayi Mukama, oli kumpi nange, era n’amateeka go gonna ga mazima.
קרוב אתה יהוה וכל מצותיך אמת׃
152 Okuva edda n’edda nayiga mu biragiro byo, nga wabissaawo bibeerewo emirembe gyonna.
קדם ידעתי מעדתיך כי לעולם יסדתם׃
153 Tunuulira okubonaabona kwange omponye, kubanga seerabira mateeka go.
ראה עניי וחלצני כי תורתך לא שכחתי׃
154 Ompolereze, onnunule, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
ריבה ריבי וגאלני לאמרתך חיני׃
155 Abakola ebibi obulokozi bubabeera wala, kubanga tebanoonya mateeka go.
רחוק מרשעים ישועה כי חקיך לא דרשו׃
156 Ekisa kyo kinene, Ayi Mukama, onzizeemu obulamu nga bwe wasuubiza.
רחמיך רבים יהוה כמשפטיך חיני׃
157 Abalabe abanjigganya bangi, naye nze siivenga ku biragiro byo.
רבים רדפי וצרי מעדותיך לא נטיתי׃
158 Nnakuwalira abo abatakwesiga, kubanga tebakwata biragiro byo.
ראיתי בגדים ואתקוטטה אשר אמרתך לא שמרו׃
159 Laba, Ayi Mukama, bwe njagala ebiragiro byo! Onkuumenga ng’okwagala kwo bwe kuli.
ראה כי פקודיך אהבתי יהוה כחסדך חיני׃
160 Ebigambo byo byonna bya mazima meereere; n’amateeka go ga lubeerera.
ראש דברך אמת ולעולם כל משפט צדקך׃
161 Abafuzi banjigganyiza bwereere, naye ekigambo kyo nkissaamu ekitiibwa.
שרים רדפוני חנם ומדבריך פחד לבי׃
162 Nsanyukira ekisuubizo kyo okufaanana ng’oyo afunye obugagga obungi.
שש אנכי על אמרתך כמוצא שלל רב׃
163 Nkyawa era ntamwa obulimba, naye amateeka go ngagala.
שקר שנאתי ואתעבה תורתך אהבתי׃
164 Mu lunaku nkutendereza emirundi musanvu olw’amateeka go amatuukirivu.
שבע ביום הללתיך על משפטי צדקך׃
165 Abo abaagala amateeka go bali mu ddembe lingi; tewali kisobola kubeesittaza.
שלום רב לאהבי תורתך ואין למו מכשול׃
166 Nnindirira obulokozi bwo, Ayi Mukama, era mu biragiro byo mwe ntambulira.
שברתי לישועתך יהוה ומצותיך עשיתי׃
167 Ŋŋondera ebiragiro byo, mbyagala nnyo nnyini.
שמרה נפשי עדתיך ואהבם מאד׃
168 Buli kye nkola okimanyi, era olaba nga bwe nkwata ebiragiro byo.
שמרתי פקודיך ועדתיך כי כל דרכי נגדך׃
169 Okukaaba kwange kutuuke gy’oli, Ayi Mukama, ompe okutegeera ng’ekigambo kyo bwe kiri.
תקרב רנתי לפניך יהוה כדברך הבינני׃
170 Okwegayirira kwange kutuuke gy’oli, onnunule nga bwe wasuubiza.
תבוא תחנתי לפניך כאמרתך הצילני׃
171 Akamwa kange kanaakutenderezanga, kubanga gw’onjigiriza amateeka go.
תבענה שפתי תהלה כי תלמדני חקיך׃
172 Olulimi lwange lunaayimbanga ekigambo kyo, kubanga bye walagira byonna bya butuukirivu.
תען לשוני אמרתך כי כל מצותיך צדק׃
173 Omukono gwo gumbeerenga, kubanga nnonzeewo okukwatanga ebiragiro byo.
תהי ידך לעזרני כי פקודיך בחרתי׃
174 Neegomba nnyo obulokozi bwo, Ayi Mukama, era amateeka go lye ssanyu lyange.
תאבתי לישועתך יהוה ותורתך שעשעי׃
175 Ompe obulamu nkutenderezenga, era amateeka go gampanirirenga.
תחי נפשי ותהללך ומשפטך יעזרני׃
176 Ndi ng’endiga ebuze. Onoonye omuddu wo, kubanga seerabidde mateeka go.
תעיתי כשה אבד בקש עבדך כי מצותיך לא שכחתי׃

< Zabbuli 119 >