< Zabbuli 118 >

1 Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
הֹוד֣וּ לַיהוָ֣ה כִּי־טֹ֑וב כִּ֖י לְעֹולָ֣ם חַסְדֹּֽו׃
2 Kale Isirayiri ayogere nti, “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”
יֹֽאמַר־נָ֥א יִשְׂרָאֵ֑ל כִּ֖י לְעֹולָ֣ם חַסְדֹּֽו׃
3 N’ab’ennyumba ya Alooni boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
יֹֽאמְרוּ־נָ֥א בֵֽית־אַהֲרֹ֑ן כִּ֖י לְעֹולָ֣ם חַסְדֹּֽו׃
4 Abo abatya Mukama boogere nti, “Okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”
יֹֽאמְרוּ־נָ֭א יִרְאֵ֣י יְהוָ֑ה כִּ֖י לְעֹולָ֣ם חַסְדֹּֽו׃
5 Bwe nnali mu nnaku empitirivu, nakoowoola Mukama, n’annyanukula, n’agimponya.
מִֽן־הַ֭מֵּצַ֥ר קָרָ֣אתִי יָּ֑הּ עָנָ֖נִי בַמֶּרְחָ֣ב יָֽהּ׃
6 Mukama ali ku ludda lwange, siriiko kye ntya. Abantu bayinza kunkolako ki?
יְהוָ֣ה לִ֭י לֹ֣א אִירָ֑א מַה־יַּעֲשֶׂ֖ה לִ֣י אָדָֽם׃
7 Mukama ali nange, ye anyamba. Abalabe bange nnaabatunuuliranga n’amaaso ag’obuwanguzi.
יְהוָ֣ה לִ֭י בְּעֹזְרָ֑י וַ֝אֲנִ֗י אֶרְאֶ֥ה בְשֹׂנְאָֽי׃
8 Kirungi okwesiga Mukama okusinga okwesiga omuntu.
טֹ֗וב לַחֲסֹ֥ות בַּיהוָ֑ה מִ֝בְּטֹ֗חַ בָּאָדָֽם׃
9 Kirungi okuddukira eri Mukama okusinga okwesiga abalangira.
טֹ֗וב לַחֲסֹ֥ות בַּיהוָ֑ה מִ֝בְּטֹ֗חַ בִּנְדִיבִֽים׃
10 Ensi zonna zanzinda ne zinneebungulula, naye mu linnya lya Mukama naziwangula.
כָּל־גֹּויִ֥ם סְבָב֑וּנִי בְּשֵׁ֥ם יְ֝הוָ֗ה כִּ֣י אֲמִילַֽם׃
11 Banneebungulula enjuuyi zonna; naye mu linnya lya Mukama nabawangula.
סַבּ֥וּנִי גַם־סְבָב֑וּנִי בְּשֵׁ֥ם יְ֝הוָ֗ה כִּ֣י אֲמִילַֽם׃
12 Bankuŋŋaanirako ne banneebungulula ng’enjuki; naye ne basirikka ng’amaggwa agakutte omuliro; mu linnya lya Mukama nabawangula.
סַבּ֤וּנִי כִדְבֹורִ֗ים דֹּ֭עֲכוּ כְּאֵ֣שׁ קֹוצִ֑ים בְּשֵׁ֥ם יְ֝הוָ֗ה כִּ֣י אֲמִילַֽם׃
13 Bannumba n’amaanyi mangi, ne mbulako katono okugwa; naye Mukama n’annyamba.
דַּחֹ֣ה דְחִיתַ֣נִי לִנְפֹּ֑ל וַ֖יהוָ֣ה עֲזָרָֽנִי׃
14 Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange, afuuse obulokozi bwange.
עָזִּ֣י וְזִמְרָ֣ת יָ֑הּ וַֽיְהִי־לִ֝֗י לִֽישׁוּעָֽה׃
15 Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi, nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti, “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
קֹ֤ול ׀ רִנָּ֬ה וִֽישׁוּעָ֗ה בְּאָהֳלֵ֥י צַדִּיקִ֑ים יְמִ֥ין יְ֝הוָה עֹ֣שָׂה חָֽיִל׃
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa; omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
יְמִ֣ין יְ֭הוָה רֹומֵמָ֑ה יְמִ֥ין יְ֝הוָה עֹ֣שָׂה חָֽיִל׃
17 Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu, ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
לֹֽא אָמ֥וּת כִּי־אֶֽחְיֶ֑ה וַ֝אֲסַפֵּ֗ר מַֽעֲשֵׂ֥י יָֽהּ׃
18 Mukama ambonerezza nnyo, naye tandese kufa.
יַסֹּ֣ר יִסְּרַ֣נִּי יָּ֑הּ וְ֝לַמָּ֗וֶת לֹ֣א נְתָנָֽנִי׃
19 Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu, nnyingire, neebaze Mukama.
פִּתְחוּ־לִ֥י שַׁעֲרֵי־צֶ֑דֶק אָֽבֹא־בָ֝ם אֹודֶ֥ה יָֽהּ׃
20 Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama, abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
זֶֽה־הַשַּׁ֥עַר לַיהוָ֑ה צַ֝דִּיקִ֗ים יָבֹ֥אוּ בֹֽו׃
21 Nkwebaza kubanga onnyanukudde n’ofuuka obulokozi bwange.
אֹ֭ודְךָ כִּ֣י עֲנִיתָ֑נִי וַתְּהִי־לִ֝֗י לִֽישׁוּעָֽה׃
22 Ejjinja abazimbi lye baagaana lye lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
אֶ֭בֶן מָאֲס֣וּ הַבֹּונִ֑ים הָ֝יְתָ֗ה לְרֹ֣אשׁ פִּנָּֽה׃
23 Kino Mukama ye yakikola; era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
מֵאֵ֣ת יְ֭הוָה הָ֣יְתָה זֹּ֑את הִ֖יא נִפְלָ֣את בְּעֵינֵֽינוּ׃
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze; tusanyuke tulujagulizeeko.
זֶה־הַ֭יֹּום עָשָׂ֣ה יְהוָ֑ה נָגִ֖ילָה וְנִשְׂמְחָ֣ה בֹֽו׃
25 Ayi Mukama tukwegayiridde, tulokole, Ayi Mukama tukwegayiridde otuwe obuwanguzi.
אָנָּ֣א יְ֭הוָה הֹושִׁ֘יעָ֥ה נָּ֑א אָֽנָּ֥א יְ֝הוָ֗ה הַצְלִ֘יחָ֥ה נָּֽא׃
26 Alina omukisa oyo ajja mu linnya lya Mukama. Tubasabidde omukisa nga tuli mu nnyumba ya Mukama.
בָּר֣וּךְ הַ֭בָּא בְּשֵׁ֣ם יְהוָ֑ה בֵּ֝רַֽכְנוּכֶ֗ם מִבֵּ֥ית יְהוָֽה׃
27 Mukama ye Katonda, y’atwakiza omusana. Mukumbire wamu nga mukutte amatabi mu ngalo zammwe n’ekiweebwayo kyammwe kituukire ddala ku mayembe g’ekyoto.
אֵ֤ל ׀ יְהוָה֮ וַיָּ֪אֶר לָ֥נוּ אִסְרוּ־חַ֥ג בַּעֲבֹתִ֑ים עַד־קַ֝רְנֹ֗ות הַמִּזְבֵּֽחַ׃
28 Ggwe Katonda wange, nnaakwebazanga; ggwe Katonda wange, nange nnaakugulumizanga.
אֵלִ֣י אַתָּ֣ה וְאֹודֶ֑ךָּ אֱ֝לֹהַ֗י אֲרֹומְמֶֽךָּ׃
29 Mwebaze Mukama kubanga mulungi, n’okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
הֹוד֣וּ לַיהוָ֣ה כִּי־טֹ֑וב כִּ֖י לְעֹולָ֣ם חַסְדֹּֽו׃

< Zabbuli 118 >