< Zabbuli 117 >

1 Mutendereze Mukama, mmwe ensi zonna; mumugulumize, mmwe amawanga gonna.
Praise Jehovah, all you nations. Praise him, all you peoples.
2 Kubanga okwagala kwe okutaggwaawo kungi gye tuli; n’obwesigwa bwa Mukama bwa lubeerera. Mutendereze Mukama.
For his loving kindness is great toward us. Jehovah's faithfulness endures forever. Praise JAH.

< Zabbuli 117 >