< Zabbuli 116 >

1 Mukama mmwagala, kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
I love Yahweh because he hears my voice and my pleas for mercy.
2 Kubanga ateze okutu kwe gye ndi, kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.
Because he listened to me, I will call on him as long as I live.
3 Emiguwa gy’okufa gyansiba, n’okulumwa okw’emagombe kwankwata; ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya. (Sheol h7585)
The cords of death surrounded me, and the snares of Sheol confronted me; I felt anguish and sorrow. (Sheol h7585)
4 Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti, “Ayi Mukama, ndokola.”
Then I called on the name of Yahweh: “Please Yahweh, rescue my life.”
5 Mukama wa kisa, era mutuukirivu; Katonda waffe ajjudde okusaasira.
Yahweh is merciful and fair; our God is compassionate.
6 Mukama alabirira abantu abaabulijjo; bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.
Yahweh protects the naive; I was brought low, and he saved me.
7 Wummula ggwe emmeeme yange, kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
My soul can return to its resting place, for Yahweh has been good to me.
8 Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa, n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba; n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
For you rescued my life from death, my eyes from tears, and my feet from stumbling.
9 ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama mu nsi ey’abalamu.
I will serve Yahweh in the land of the living.
10 Nakkiriza kyennava njogera nti, “Numizibbwa nnyo.”
I believed in him, even when I said, “I am greatly afflicted.”
11 Ne njogera nga nterebuse nti, “Abantu bonna baliraba.”
In my confusion I said, “All men are liars.”
12 Mukama ndimusasula ntya olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
How can I repay Yahweh for all his kindnesses to me?
13 Nditoola ekikompe eky’obulokozi, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
I will raise the cup of salvation, and call on the name of Yahweh.
14 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna.
I will fulfill my vows to Yahweh in the presence of all his people.
15 Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
Precious in the sight of Yahweh is the death of his saints.
16 Ayi Mukama, onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe, nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.
Yahweh, indeed, I am your servant; I am your servant, the son of your servant woman; you have taken away my bonds.
17 Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza, ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
I will offer to you the sacrifice of thanksgiving and will call on the name of Yahweh.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama, mu maaso g’abantu be bonna,
I will fulfill my vows to Yahweh in the presence of all his people,
19 mu mpya z’ennyumba ya Mukama; wakati wo, ggwe Yerusaalemi. Mutendereze Mukama.
in the courts of Yahweh's house, in your midst, Jerusalem. Praise Yahweh.

< Zabbuli 116 >