< Zabbuli 115 >
1 Si ffe, Ayi Mukama, si ffe. Wabula erinnya lyo lye ligwana okuweebwanga ekitiibwa, olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo.
2 Lwaki amawanga gabuuza nti, “Katonda waabwe ali ludda wa?”
3 Katonda waffe ali mu ggulu; akola buli ky’ayagala.
4 Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu, ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
5 Birina emimwa, naye tebyogera; birina amaaso, naye tebiraba.
6 Birina amatu, naye tebiwulira; birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
7 Birina engalo, naye tebikwata; birina ebigere, naye tebitambula; ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,
8 abakozi ababikola, n’abo bonna ababyesiga balibifaanana.
9 Mmwe ennyumba ya Isirayiri mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
10 Mmwe ennyumba ya Alooni mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abamutya, mwesigenga Mukama, ye mubeezi wammwe, era ye ngabo yammwe.
12 Mukama anaatujjukiranga, era anaatuwanga omukisa. Ab’ennyumba ya Isirayiri anaabawanga omukisa; ab’omu nnyumba ya Alooni anaabawanga omukisa;
13 n’abo abamutya, ab’ekitiibwa n’abatali ba kitiibwa, Mukama anaabawanga omukisa.
14 Mukama abaaze mweyongere nnyo obungi, mmwe n’abaana bammwe.
15 Mukama, eyakola eggulu n’ensi, abawe omukisa.
16 Eggulu ery’oku ntikko lya Mukama, naye ensi yagiwa abantu bonna.
17 Abafu tebatendereza Mukama, wadde abo abaserengeta emagombe.
18 Naye ffe tunaatenderezanga Mukama, okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. Mutendereze Mukama!