< Zabbuli 113 >

1 Mutendereze Mukama! Mumutendereze, mmwe abaweereza be, mutendereze erinnya lya Mukama. 2 Erinnya lya Mukama litenderezebwe okuva leero n’okutuusa emirembe gyonna. 3 Enjuba weeviirayo okutuusa bw’egwa, erinnya lya Mukama litenderezebwenga. 4 Mukama agulumizibwa okusinga amawanga gonna, era n’ekitiibwa kye kisinga eggulu. 5 Ani afaanana nga Mukama Katonda waffe, atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka eri waggulu ennyo, 6 ne yeetoowaza okutunuulira eggulu n’ensi? 7 Abaavu abayimusa n’abaggya mu nfuufu; n’abali mu kwetaaga n’abasitula ng’abaggya mu vvu, 8 n’abatuuza wamu n’abalangira, awamu n’abalangira abo abafuga abantu be. 9 Omukazi omugumba amuwa abaana, n’abeera mu maka ge n’ezzadde lye ng’ajjudde essanyu. Mutendereze Mukama!

< Zabbuli 113 >