< Zabbuli 110 >

1 Zabbuli ya Dawudi. Mukama yagamba Mukama wange nti: “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo ne mbassa wansi w’ebigere byo.”
לְדָוִד מִזְמוֹר נְאֻם יְהוָה ׀ לַֽאדֹנִי שֵׁב לִֽימִינִי עַד־אָשִׁית אֹיְבֶיךָ הֲדֹם לְרַגְלֶֽיךָ׃
2 Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni; olifuga abalabe bo.
מַטֵּֽה־עֻזְּךָ יִשְׁלַח יְהוָה מִצִיּוֹן רְדֵה בְּקֶרֶב אֹיְבֶֽיךָ׃
3 Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo ng’ekiseera ky’olutalo kituuse. Abavubuka bo, nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu, balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
עַמְּךָ נְדָבֹת בְּיוֹם חֵילֶךָ בְּֽהַדְרֵי־קֹדֶשׁ מֵרֶחֶם מִשְׁחָר לְךָ טַל יַלְדֻתֶֽיךָ׃
4 Mukama yalayira, era tagenda kukijjulula, yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
נִשְׁבַּע יְהוָה ׀ וְלֹא יִנָּחֵם אַתָּֽה־כֹהֵן לְעוֹלָם עַל־דִּבְרָתִי מַלְכִּי־צֶֽדֶק׃
5 Mukama anaakulwaniriranga; bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
אֲדֹנָי עַל־יְמִֽינְךָ מָחַץ בְּיוֹם־אַפּוֹ מְלָכִֽים׃
6 Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza, n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
יָדִין בַּגּוֹיִם מָלֵא גְוִיּוֹת מָחַץ רֹאשׁ עַל־אֶרֶץ רַבָּֽה׃
7 Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo, n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.
מִנַּחַל בַּדֶּרֶךְ יִשְׁתֶּה עַל־כֵּן יָרִים רֹֽאשׁ׃

< Zabbuli 110 >