< Zabbuli 11 >
1 Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Mu Mukama mwe neekweka; ate muyinza mutya okuŋŋamba nti, “Ddukira ku nsozi ng’ebinyonyi?
2 Kubanga laba ababi baleega emitego gyabwe egy’obusaale, balase abalina omutima omulongoofu.
3 Emisingi nga gizikirizibwa, omutuukirivu ayinza kukola ki?”
4 Mukama ali mu Yeekaalu ye entukuvu; Mukama atudde ku ntebe ye ey’obwakabaka eri mu ggulu. Amaaso ge gatunuulira era geetegereza abaana b’abantu.
5 Mukama akebera abatuukirivu naye omutima gwe gukyawa ababi, n’abakola eby’obukambwe.
6 Ababi alibayiwako amanda ag’omuliro; n’empewo ezibambula gwe guliba omugabo gwabwe.
7 Kubanga Mukama mutuukirivu era ayagala eby’obutuukirivu; abo abalongoofu be balimulaba.