< Zabbuli 108 >
1 Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi. Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda; nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
2 Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba, nzija kuyimba okukeesa obudde.
3 Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna, nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
4 Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu; n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
5 Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu; n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.
6 Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo, abo booyagala banunulibwe.
7 Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti, “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu, era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
8 Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira; ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
9 Mowaabu be baweereza bange abawulize; ate Edomu be baddu bange; Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”
10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu? Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 Si ggwe, ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe, kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi; kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.