< Zabbuli 107 >

1 Mwebaze Mukama, kubanga mulungi; okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.
הדו ליהוה כי-טוב כי לעולם חסדו
2 Kale abanunule ba Mukama boogere bwe batyo; abo be yanunula mu mikono gy’abalabe;
יאמרו גאולי יהוה-- אשר גאלם מיד-צר
3 abo be yakuŋŋaanya mu mawanga; okuva Ebugwanjuba n’Ebuvanjuba, n’okuva obukiikakkono ne mu bukiikaddyo.
ומארצות קבצם ממזרח וממערב מצפון ומים
4 Abamu baataataaganira mu malungu nga babuliddwa ekkubo eribatwala ku kibuga gye banaabeeranga.
תעו במדבר בישימון דרך עיר מושב לא מצאו
5 Baalumwa ennyonta n’enjala, obulamu bwabwe ne butandika okusereba.
רעבים גם-צמאים-- נפשם בהם תתעטף
6 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu kabi; n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
ויצעקו אל-יהוה בצר להם ממצוקותיהם יצילם
7 Yabakulembera butereevu n’abatuusa mu kibuga mwe baabeera.
וידריכם בדרך ישרה-- ללכת אל-עיר מושב
8 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם
9 Kubanga abalina ennyonta abanywesa, n’abayala abakkusa ebirungi.
כי-השביע נפש שקקה ונפש רעבה מלא-טוב
10 Abamu baatuulanga mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa; abasibiddwa mu byuma era abali mu nnaku ennyingi;
ישבי חשך וצלמות אסירי עני וברזל
11 kubanga baajeemera ekigambo kya Katonda, ne banyoomoola amagezi g’oyo Ali Waggulu Ennyo.
כי-המרו אמרי-אל ועצת עליון נאצו
12 Baakozesebwa emirimu egy’amaanyi, emitima gyabwe ne gijjula obuyinike; baagwanga wansi, naye nga tebalina abasitulawo.
ויכנע בעמל לבם כשלו ואין עזר
13 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu bizibu byabwe, era n’abawonya;
ויזעקו אל-יהוה בצר להם ממצקותיהם יושיעם
14 n’abaggya mu kizikiza ne mu kisiikirize eky’okufa; n’enjegere ezaali zibasibye n’azikutula.
יוציאם מחשך וצלמות ומוסרותיהם ינתק
15 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olwebikolwa bye eby’ekitalo by’akolera abaana b’abantu!
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם
16 Kubanga enzigi ez’ebikomo azaasaayasa, n’emitayimbwa egy’ekyuma agimenyamu.
כי-שבר דלתות נחשת ובריחי ברזל גדע
17 Abamu baafuuka basirusiru olw’obujeemu bwabwe; ne babonaabona olw’ebikolwa byabwe ebibi.
אולים מדרך פשעם ומעונתיהם יתענו
18 Ne batamwa emmere yonna, ne babulako katono ddala okufa.
כל-אכל תתעב נפשם ויגיעו עד-שערי מות
19 Bwe batyo ne bakaabirira Mukama nga bali mu buzibu obwo, n’abawonya.
ויזעקו אל-יהוה בצר להם ממצקותיהם יושיעם
20 Yabatumira ekigambo kye, n’awonya endwadde zaabwe; n’abalokola mu kuzikirira.
ישלח דברו וירפאם וימלט משחיתותם
21 Kale singa beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם
22 Bamuleeterenga ebiweebwayo eby’okwebaza, era batendenga ebikolwa bye n’ennyimba ez’essanyu.
ויזבחו זבחי תודה ויספרו מעשיו ברנה
23 Abalala baasaabalira mu maato ku nnyanja; baali basuubuzi b’oku gayanja aganene.
] יורדי הים באניות עשי מלאכה במים רבים
24 Baalaba Mukama bye yakola, ebikolwa bye eby’ekitalo mu buziba bw’ennyanja.
] המה ראו מעשי יהוה ונפלאותיו במצולה
25 Kubanga yalagira omuyaga ne gusitula amayengo waggulu.
] ויאמר--ויעמד רוח סערה ותרומם גליו
26 Ne gagulumira okutuuka ku ggulu, ate ne gakka wansi mu ddubi; akabenje ne kabayitirira, ne baggwaamu amaanyi.
] יעלו שמים ירדו תהומות נפשם ברעה תתמוגג
27 Ne beesunda, eruuyi n’eruuyi ne baba ng’omutamiivu atagala; n’amagezi ne gabaggwaako.
] יחוגו וינועו כשכור וכל-חכמתם תתבלע
28 Bwe batyo ne bakaabira Mukama nga bali mu buzibu; n’abawonya mu kweraliikirira kwabwe.
] ויצעקו אל-יהוה בצר להם וממצוקתיהם יוציאם
29 Omuyaga yagusirisa, ennyanja n’etteeka.
יקם סערה לדממה ויחשו גליהם
30 Ne bajjula essanyu kubanga ennyanja yateeka; n’abakulembera n’abatuusa bulungi ku mwalo gwabwe.
וישמחו כי-ישתקו וינחם אל-מחוז חפצם
31 Kale singa abantu beebazanga Mukama olw’okwagala kwe okutaggwaawo, n’olw’ebikolwa bye eby’ekyewuunyo by’akolera abaana b’abantu!
יודו ליהוה חסדו ונפלאותיו לבני אדם
32 Bamugulumizenga ng’abantu bakuŋŋaanye, era bamutenderezenga mu lukiiko lw’abakulu.
וירוממוהו בקהל-עם ובמושב זקנים יהללוהו
33 Afuula emigga amalungu, n’emikutu gy’amazzi ne giba ng’ettaka ekkalu,
ישם נהרות למדבר ומצאי מים לצמאון
34 ensi engimu n’agifuula olukoola olw’olunnyo olw’obwonoonyi bw’abantu baamu.
ארץ פרי למלחה מרעת יושבי בה
35 Eddungu yalijjuza ebidiba by’amazzi, n’ensi enkalu n’agikulukusizaamu amazzi,
ישם מדבר לאגם-מים וארץ ציה למצאי מים
36 abalina enjala n’abateeka omwo, ne beezimbira ekibuga eky’okubeeramu,
ויושב שם רעבים ויכוננו עיר מושב
37 ennimiro zaabwe ne bazisigamu emmere, ne basimba emizabbibu, ne bakungula ebibala bingi.
ויזרעו שדות ויטעו כרמים ויעשו פרי תבואה
38 Yabawa omukisa gwe, ne beeyongera obungi; n’ebisibo byabwe n’atabiganya kukendeera.
ויברכם וירבו מאד ובהמתם לא ימעיט
39 Ate ne bakendeera obungi, ne bakkakkanyizibwa olw’okujeezebwa, n’okujoogebwa n’okulaba ennaku;
וימעטו וישחו-- מעצר רעה ויגון
40 oyo anyooma n’abakungu, n’ababungeetanyiza mu lukoola omutali kantu.
] שפך בוז על-נדיבים ויתעם בתהו לא-דרך
41 Naye abaali mu kwetaaga yabamalako ennaku n’okubonaabona, n’ayaza ezzadde lyabwe ng’ebisibo.
וישגב אביון מעוני וישם כצאן משפחות
42 Abagolokofu, bino babiraba ne basanyuka; naye abakola ebibi bo basirika busirisi.
יראו ישרים וישמחו וכל-עולה קפצה פיה
43 Abalina amagezi bonna, bagondere ebigambo bino era bategeere okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.
מי-חכם וישמר-אלה ויתבוננו חסדי יהוה

< Zabbuli 107 >