< Zabbuli 106 >
1 Mumutendereze Mukama! Mwebaze Mukama kubanga mulungi, kubanga okwagala kwe tekuggwaawo emirembe gyonna.
2 Ani ayinza okwogera ku bikulu Mukama by’akola n’abimalayo, oba okumutendereza obulungi nga bw’asaanira?
3 Balina omukisa abalina obwenkanya, era abakola ebituufu bulijjo.
4 Onzijukiranga, Ayi Mukama, bw’obanga okolera abantu bo ebirungi; nange onnyambe bw’olibalokola,
5 ndyoke neeyagalire wamu n’abalonde bo nga bafunye ebirungi, nsanyukire wamu n’eggwanga lyo, era ntendererezenga mu bantu bo.
6 Twonoonye, nga bajjajjaffe bwe baakola; tukoze ebibi ne tusobya nnyo.
7 Bakadde baffe tebaafaayo kujjukira ebyamagero bye wakola nga bali mu Misiri; n’ebyekisa ebingi bye wabakolera tebaabijjukira, bwe baatuuka ku Nnyanja Emyufu ne bakujeemera.
8 Naye Mukama n’abalokola, olw’erinnya lye, alyoke amanyise amaanyi g’obuyinza bwe obungi.
9 Yaboggolera Ennyanja Emyufu, n’ekalira; n’abakulembera okubayisa mu buziba ng’abayita ku lukalu mu ddungu.
10 Yabawonya abalabe baabwe; n’abanunula mu mikono gy’abo ababakyawa.
11 Amazzi ne gabuutikira abalabe baabwe; ne wataba n’omu awona.
12 Olwo ne bakkiriza ebigambo bye, bye yabasuubiza; ne bayimba nga bamutendereza.
13 Waayita akabanga katono ne beerabira ebyo byonna bye yakola; ne batawulirizanga kubuulirira kwe.
14 Bwe baatuuka mu ddungu, okwegomba ne kubasukkirira; ne bagezesa Katonda nga bali mu lukoola olwo.
15 Bw’atyo n’abawa kye baasaba, kyokka n’abaleetera n’olumbe olw’amaanyi.
16 Nga bali mu lusiisira baakwatirwa obuggya eri Musa ne Alooni abalonde ba Mukama.
17 Ettaka ne lyasama ne limira Dasani; Abiraamu ne banne ne libasaanyaawo.
18 Omuliro ne gukoleera ne gukwata abagoberezi baabwe; ennimi z’omuliro ne zookya aboonoonyi.
19 Bwe baali e Kolebu ne beekolera ennyana; ne basinza ekifaananyi ekyo kye baakola mu byuma bye baasaanuusa.
20 Ekitiibwa kya Katonda ne bakiwaanyisaamu ekibumbe ekifaanana ente erya omuddo.
21 Ne beerabira Katonda eyabanunula, eyabakolera ebintu ebikulu bwe bityo mu Misiri,
22 ebyamagero bye yabakolera mu nsi ya Kaamu, n’ebikolwa eby’entiisa ku Nnyanja Emyufu.
23 N’agamba nti, Ajja kubazikiriza. Naye Musa, omulonde we, n’ayimirira mu maaso ge n’amwegayirira, obusungu bwe ne bumuggwaako n’atabazikiriza.
24 Baanyooma eby’ensi ennungi, kubanga ekisuubizo kye tebaakirinaamu bwesige.
25 Beemulugunyiriza mu weema zaabwe, ne batagondera ddoboozi lya Mukama.
26 Kyeyava yeerayirira nti alibazikiririza mu ddungu,
27 era nga n’abaana baabwe balisaasaanira mu mawanga ne bafiira eyo.
28 Baatandika okusinza Baali e Peoli; ne balya ebyaweebwangayo eri bakatonda abataliimu bulamu.
29 Ne banyiiza Katonda olw’ebikolwa byabwe ebibi; kawumpuli kyeyava abagwamu.
30 Naye Finekaasi n’ayimirira wakati waabwe ne Katonda, kawumpuli n’agenda.
31 Ekyo ne kimubalirwa nga kya butuukirivu emirembe gyonna.
32 Bwe baatuuka okumpi n’amazzi ag’e Meriba ne banyiiza Mukama, ne baleetera Musa emitawaana;
33 kubanga baajeemera ebiragiro bye, ne kimwogeza n’ebigambo ebitaali bya magezi.
34 Abantu be baalwanyisa tebaabazikiriza nga Mukama bwe yali abalagidde,
35 naye beetabika n’abannaggwanga ago ne bayiga empisa zaabwe.
36 Baasinza ebifaananyi ebikole n’emikono eby’amawanga ago ne bibafuukira omutego.
37 Baawaayo batabani baabwe ne bawala baabwe eri bakatonda abo.
38 Ne bayiwa omusaayi gwa batabani baabwe ne bawala baabwe abataliiko musango, be baawangayo eri ebifaananyi ebikole n’emikono Abakanani bye baakola, ensi n’eyonoonebwa n’omusaayi gwabwe.
39 Beeyonoona olw’ebyo bye baakola, ebikolwa byabwe ne bibafuula abataliimu nsa nga bavudde ku Katonda waabwe.
40 Mukama kyeyava asunguwalira abantu be, n’akyawa ezzadde lye.
41 N’abawaayo eri amawanga amalala, abalabe ne babafuga.
42 Abalabe baabwe ne babanyigiriza, ne babatuntuza nnyo ddala.
43 Yabawonyanga abalabe baabwe emirundi mingi, naye obujeemu ne bubalemeramu, ebibi byabwe ne bigenda nga bibasaanyaawo.
44 Naye bwe yawulira okukaaba kwabwe, n’abakwatirwa ekisa;
45 ku lwabwe, n’ajjukira endagaano ye; okwagala kwe okungi ne kumuleetera okukyusa ekirowoozo kye.
46 N’abaleetera okusaasirwa abo abaabawambanga.
47 Ayi Mukama Katonda, otulokole, otukuŋŋaanye, otuggye mu mawanga, tulyoke twebazenga erinnya lyo ettukuvu, era tusanyukenga nga tukutendereza.
48 Mukama atenderezebwenga, Katonda wa Isirayiri, emirembe n’emirembe. Abantu bonna ka boogere nti, “Amiina!” Mumutendereze Mukama.