< Zabbuli 105 >
1 Mwebaze Mukama, mukoowoole erinnya lye; amawanga gonna mugategeeze by’akoze.
2 Mumuyimbire, mumutendereze; muyimbe ku byamagero bye.
3 Mumusuute, ng’erinnya lye ettukuvu muligulumiza; emitima gy’abo abanoonya Mukama gijjule essanyu.
4 Munoonye Mukama n’amaanyi ge; mumunoonyenga ennaku zonna.
5 Mujjukirenga eby’ekitalo bye yakola, ebyamagero bye, n’emisango gye yasala;
6 mmwe abazzukulu ba Ibulayimu, abaweereza be mmwe abaana ba Yakobo, abalonde be.
7 Ye Mukama Katonda waffe; ye alamula mu nsi yonna.
8 Ajjukira endagaano ye emirembe gyonna, kye kigambo kye yalagira, ekyakamala emirembe olukumi,
9 ye ndagaano gye yakola ne Ibulayimu, era kye kisuubizo kye yalayirira Isaaka.
10 Yakikakasa Yakobo ng’etteeka, n’akiwa Isirayiri ng’endagaano eteriggwaawo nti,
11 “Ndikuwa ggwe ensi ya Kanani okuba omugabo gwo.”
12 Bwe baali bakyali batono, nga si bangi n’akamu, era nga bagwira mu nsi omwo,
13 baatambulatambulanga okuva mu ggwanga erimu okulaga mu ddala, ne bavanga mu bwakabaka obumu ne balaga mu bulala.
14 Teyaganya muntu yenna kubayisa bubi; n’alabulanga bakabaka ku lwabwe nti,
15 “Abalonde bange, ne bannabbi bange temubakolangako kabi.”
16 Yaleeta enjala mu nsi, emmere yaabwe yonna n’agizikiriza.
17 N’atuma omuntu okubeesooka mu maaso, ye Yusufu eyatundibwa ng’omuddu,
18 ebigere bye ne binuubulwa enjegere ze baamusibya, obulago bwe ne buteekebwa mu byuma,
19 okutuusa bye yategeeza lwe byatuukirira, okutuusa ekigambo kya Mukama lwe kyamukakasa nti bye yayogera bya mazima.
20 Kabaka n’atuma ne bamusumulula; omufuzi w’ensi eyo yamuggya mu kkomera.
21 Yamufuula omukulu w’eby’omu maka ge, n’akulira byonna omufuzi oyo bye yalina;
22 okukangavvulanga abalangira be nga bwe yalabanga, n’okuyigiriza abakulu eby’amagezi.
23 Oluvannyuma Isirayiri n’ajja mu Misiri; Yakobo bw’atyo n’atuula mu nsi ya Kaamu nga munnaggwanga.
24 Mukama n’ayaza nnyo abantu be; ne baba bangi nnyo, n’abalabe baabwe ne beeraliikirira,
25 n’akyusa emitima gyabwe ne bakyawa abantu be, ne basalira abaweereza be enkwe.
26 Yatuma abaweereza be Musa ne Alooni, be yalonda.
27 Ne bakola obubonero bwe obw’ekitalo mu bantu abo; ne bakolera ebyamagero bye mu nsi ya Kaamu.
28 Yaleeta ekizikiza ensi yonna n’ekwata, kubanga baali bajeemedde ekigambo kye.
29 Amazzi gaabwe yagafuula omusaayi, ne kireetera ebyennyanja byabwe okufa.
30 Ensi yaabwe yajjula ebikere, ebyatuukira ddala ne mu bisenge by’abafuzi baabwe.
31 Yalagira, ebiwuka ebya buli ngeri ne bijja, n’ensekere ne zeeyiwa mu bitundu byonna eby’ensi yaabwe.
32 Yafuula enkuba okuba amayinja g’omuzira; eggulu ne libwatuka mu nsi yaabwe yonna.
33 Yakuba emizeeyituuni n’emizabbibu, n’azikiriza emiti gy’omu nsi yaabwe.
34 Yalagira, enzige ne zijja ne bulusejjera obutabalika muwendo.
35 Ne birya buli kimera kyonna mu nsi yaabwe, na buli kisimbe kyonna mu ttaka lyabwe ne kiriibwa.
36 N’azikiriza abaana ababereberye bonna mu nsi yaabwe, nga bye bibala ebisooka eby’obuvubuka bwabwe.
37 Yaggya Abayisirayiri mu nsi eyo nga balina ffeeza nnyingi ne zaabu; era bonna baali ba maanyi.
38 Abamisiri baasanyuka bwe baalaba Abayisirayiri nga bagenze, kubanga baali batandise okubatiira ddala.
39 Yayanjuluzanga ekire ne kibabikka, n’omuliro ne gubamulisiza ekiro.
40 Baamusaba, n’abaweereza enkwale era n’abaliisanga emmere eva mu ggulu ne bakkuta.
41 Yayasa olwazi, amazzi ne gatiiriika, ne gakulukuta mu ddungu ng’omugga.
42 Kubanga yajjukira ekisuubizo kye ekitukuvu kye yawa omuweereza we Ibulayimu.
43 Abantu be yabaggyayo nga bajaguza, abalonde be nga bayimba olw’essanyu.
44 Yabawa ensi eyali ey’amawanga amalala, ne basikira ebyo abalala bye baakolerera;
45 balyoke bakwatenga amateeka ge, era bagonderenga ebiragiro bye. Mumutendereze Mukama.