< Zabbuli 104 >
1 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange. Ayi Mukama Katonda wange, oli mukulu nnyo; ojjudde obukulu n’ekitiibwa.
2 Yeebika ekitangaala ng’ayeebikka ekyambalo n’abamba eggulu ng’eweema,
3 n’ateeka akasolya k’ebisulo bye eby’oku ntikko kungulu ku mazzi; ebire abifuula amagaali ge, ne yeebagala ebiwaawaatiro by’empewo.
4 Afuula empewo ababaka be, n’ennimi z’omuliro ogwaka abaweereza be.
5 Yassaawo ensi ku misingi gyayo; teyinza kunyeenyezebwa.
6 Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo; amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 Bwe wagaboggolera ne gadduka; bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 gaakulukutira ku nsozi ennene, ne gakkirira wansi mu biwonvu mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka, na kuddayo kubuutikira nsi.
10 Alagira ensulo ne zisindika amazzi mu biwonvu; ne gakulukutira wakati w’ensozi.
11 Ne ganywesa ebisolo byonna eby’omu nsiko; n’endogoyi ne gazimalako ennyonta.
12 Ebinyonyi eby’omu bbanga bizimba ebisu byabyo ku mabbali g’amazzi, ne biyimbira mu matabi.
13 Afukirira ensozi ennene ng’osinziira waggulu gy’obeera; ensi n’ekkuta ebibala by’emirimu gyo.
14 Olagira omuddo ne gukula okuliisa ente, n’ebirime abantu bye balima, balyoke bafune ebyokulya okuva mu ttaka.
15 Ne wayini okusanyusa omutima gwe, n’ebizigo okwesiiga awoomye endabika ye, n’emmere okumuwa obulamu.
16 Emiti gya Mukama gifuna amazzi mangi; gy’emivule gy’e Lebanooni gye yasimba.
17 Omwo ebinyonyi mwe bizimba ebisu byabyo; ne ssekanyolya asula mu miti omwo.
18 Ku nsozi empanvu eyo embulabuzi ez’omu nsiko gye zibeera; n’enjazi kye kiddukiro ky’obumyu.
19 Wakola omwezi okutegeeza ebiro; n’enjuba bw’egwa n’eraga olunaku.
20 Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro; olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
21 Empologoma ento zikaabira emmere gye zinaalya; nga zinoonya ebyokulya okuva eri Katonda.
22 Enjuba bw’evaayo ne zigenda, n’oluvannyuma ne zikomawo ne zigalamira mu mpuku zaazo.
23 Abantu ne bagenda ku mirimu gyabwe, ne bakola okutuusa akawungeezi.
24 Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo! Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo; ensi ejjudde ebitonde byo.
25 Waliwo ennyanja, nnene era ngazi, ejjudde ebitonde ebitabalika, ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri; ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.
27 Ebyo byonna bitunuulira ggwe okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 Bw’ogibiwa, nga bigikuŋŋaanya; bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi ne bikkusibwa.
29 Bw’okweka amaaso go ne byeraliikirira nnyo; bw’obiggyamu omukka nga bifa, nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo, ne bifuna obulamu obuggya; olwo ensi n’ogizza buggya.
31 Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna; era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 Atunuulira ensi, n’ekankana; bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.
33 Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna; nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga; kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.
35 Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi; aboonoonyi baleme kulabikirako ddala. Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange. Mumutenderezenga Mukama.