< Zabbuli 103 >

1 Zabbuli Ya Dawudi. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange; ne byonna ebiri mu nze byebaze erinnya lye ettukuvu.
לדוד ברכי נפשי את יהוה וכל קרבי את שם קדשו׃
2 Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange, era teweerabiranga birungi bye byonna.
ברכי נפשי את יהוה ואל תשכחי כל גמוליו׃
3 Asonyiwa ebibi byo byonna, n’awonya n’endwadde zo zonna.
הסלח לכל עונכי הרפא לכל תחלאיכי׃
4 Anunula obulamu bwo emagombe, n’akusaasira era n’akwagala n’okwagala okutaggwaawo.
הגואל משחת חייכי המעטרכי חסד ורחמים׃
5 Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala; obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.
המשביע בטוב עדיך תתחדש כנשר נעוריכי׃
6 Mukama asala mu butuukirivu ne mu bwenkanya, ensonga z’abo bonna abajoogebwa.
עשה צדקות יהוה ומשפטים לכל עשוקים׃
7 Yamanyisa Musa ebyo by’ayagala, n’alaga abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.
יודיע דרכיו למשה לבני ישראל עלילותיו׃
8 Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira, tasunguwala mangu, era alina okwagala okutaggwaawo.
רחום וחנון יהוה ארך אפים ורב חסד׃
9 Taasibenga busungu ku mwoyo, era tasunguwala kumala bbanga lyonna.
לא לנצח יריב ולא לעולם יטור׃
10 Tatukola ng’okwonoona kwaffe bwe kuli, wadde okutusasula ng’ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu bwe biri.
לא כחטאינו עשה לנו ולא כעונתינו גמל עלינו׃
11 Ng’eggulu bwe litumbidde ennyo waggulu w’ensi, n’okwagala kwe bwe kuli okunene bwe kutyo eri abo abamutya.
כי כגבה שמים על הארץ גבר חסדו על יראיו׃
12 Ebibi byaffe abituggyako n’abitwala wala ng’ebuvanjuba bw’eri ewala okuva ebugwanjuba.
כרחק מזרח ממערב הרחיק ממנו את פשעינו׃
13 Kitaawe w’abaana nga bw’asaasira abaana be, ne Mukama bw’atyo bw’asaasira abo abamutya.
כרחם אב על בנים רחם יהוה על יראיו׃
14 Kubanga amanyi nga bwe twakolebwa era ng’ajjukira nti tuli nfuufu.
כי הוא ידע יצרנו זכור כי עפר אנחנו׃
15 Wabula omuntu, ennaku z’obulamu bwe ziri ng’omuddo; akula n’agimuka ng’ekimuli eky’omu nnimiro;
אנוש כחציר ימיו כציץ השדה כן יציץ׃
16 empewo ekifuuwa, ne kifa; nga ne we kyali tewakyajjukirwa.
כי רוח עברה בו ואיננו ולא יכירנו עוד מקומו׃
17 Naye okwagala kwa Katonda eri abo abamutya tekuggwaawo emirembe gyonna, n’obulokozi bwe eri abaana b’abaana baabwe.
וחסד יהוה מעולם ועד עולם על יראיו וצדקתו לבני בנים׃
18 Be bo abakuuma endagaano ye ne bajjukira okugondera amateeka ge.
לשמרי בריתו ולזכרי פקדיו לעשותם׃
19 Mukama anywezezza entebe ye ey’obwakabaka mu ggulu, n’obwakabaka bwe bufuga ensi yonna.
יהוה בשמים הכין כסאו ומלכותו בכל משלה׃
20 Mwebaze Mukama mmwe bamalayika be, mmwe ab’amaanyi abakola ky’agamba, era abagondera ekigambo kye.
ברכו יהוה מלאכיו גברי כח עשי דברו לשמע בקול דברו׃
21 Mwebaze Mukama mmwe amaggye ge ag’omu ggulu, mmwe abaweereza be abakola by’ayagala.
ברכו יהוה כל צבאיו משרתיו עשי רצונו׃
22 Mwebaze Mukama, mmwe ebitonde bye byonna ebiri mu matwale ge gonna. Weebaze Mukama, ggwe emmeeme yange.
ברכו יהוה כל מעשיו בכל מקמות ממשלתו ברכי נפשי את יהוה׃

< Zabbuli 103 >