< Zabbuli 102 >

1 Okusaba kw’oyo ali mu buyinike ng’ayigganyizibwa nga yeeyongedde okunafuwa, n’afukumula byonna ebimuli ku mutima mu maaso ga Mukama. Wulira okusaba kwange, Ayi Mukama, okkirize okukoowoola kwange kutuuke gy’oli.
תפלה לעני כי יעטף ולפני יהוה ישפך שיחו יהוה שמעה תפלתי ושועתי אליך תבוא׃
2 Tonneekweka mu biseera eby’obuyinike bwange. Ntegera okutu kwo onnyanukule mangu bwe nkukoowoola!
אל תסתר פניך ממני ביום צר לי הטה אלי אזנך ביום אקרא מהר ענני׃
3 Kubanga ennaku zange zifuumuuka ng’omukka, n’amagumba gange gaaka ng’amanda.
כי כלו בעשן ימי ועצמותי כמו קד נחרו׃
4 Omutima gwange gulinnyirirwa ng’omuddo, era guwotose; neerabira n’okulya emmere yange.
הוכה כעשב ויבש לבי כי שכחתי מאכל לחמי׃
5 Olw’okwaziirana kwange okunene, nzenna nfuuse ŋŋumbagumba.
מקול אנחתי דבקה עצמי לבשרי׃
6 Ndi ng’ekiwuugulu eky’omu ddungu, era ng’ekiwuugulu eky’omu nsiko.
דמיתי לקאת מדבר הייתי ככוס חרבות׃
7 Nsula ntunula, nga ndi ng’ekinyonyi ekitudde kyokka ku kasolya k’ennyumba.
שקדתי ואהיה כצפור בודד על גג׃
8 Abalabe bange banvuma olunaku lwonna; abo abanduulira bakozesa linnya lyange nga bakolima.
כל היום חרפוני אויבי מהוללי בי נשבעו׃
9 Kubanga ndya evvu ng’alya emmere, n’amaziga gange ne geegattika mu kyokunywa kyange.
כי אפר כלחם אכלתי ושקוי בבכי מסכתי׃
10 Olw’obusungu n’okunyiiga kwo; onneegobyeko n’onsuula eyo.
מפני זעמך וקצפך כי נשאתני ותשליכני׃
11 Ennaku zange ziri ng’ekisiikirize ky’olweggulo nga buziba; mpotoka ng’omuddo.
ימי כצל נטוי ואני כעשב איבש׃
12 Naye ggwe, Ayi Mukama, obeera mu ntebe yo ey’obwakabaka emirembe n’emirembe; erinnya lyo linajjukirwanga ab’omu mirembe gyonna.
ואתה יהוה לעולם תשב וזכרך לדר ודר׃
13 Olisituka n’osaasira Sayuuni, kino kye kiseera okulaga Sayuuni omukwano; ekiseera kye wateekateeka kituuse.
אתה תקום תרחם ציון כי עת לחננה כי בא מועד׃
14 Kubanga amayinja gaakyo abaweereza bo bagaagala nnyo, n’enfuufu y’omu kibuga ekyo ebakwasa ekisa.
כי רצו עבדיך את אבניה ואת עפרה יחננו׃
15 Amawanga gonna ganaatyanga erinnya lya Mukama; ne bakabaka bonna ab’ensi banaakankananga olw’ekitiibwa kyo.
וייראו גוים את שם יהוה וכל מלכי הארץ את כבודך׃
16 Kubanga Mukama alizimba Sayuuni buto, era n’alabika mu kitiibwa kye.
כי בנה יהוה ציון נראה בכבודו׃
17 Alyanukula okusaba kw’abanaku; talinyooma kwegayirira kwabwe.
פנה אל תפלת הערער ולא בזה את תפלתם׃
18 Bino leka biwandiikirwe ab’omu mirembe egirijja, abantu abatannatondebwa bwe balibisoma balyoke batendereze Mukama.
תכתב זאת לדור אחרון ועם נברא יהלל יה׃
19 Bategeere nti Mukama yatunula wansi ng’asinziira waggulu mu kifo kye ekitukuvu; Mukama yasinzira mu ggulu n’atunuulira ensi,
כי השקיף ממרום קדשו יהוה משמים אל ארץ הביט׃
20 okuwulira okusinda kw’abasibe, n’okusumulula abo abasaliddwa ogw’okufa.
לשמע אנקת אסיר לפתח בני תמותה׃
21 Erinnya lya Mukama, liryoke litenderezebwe mu Sayuuni, bamutenderezenga mu Yerusaalemi;
לספר בציון שם יהוה ותהלתו בירושלם׃
22 abantu nga bakuŋŋaanye, awamu n’obwakabaka, okusinza Mukama.
בהקבץ עמים יחדו וממלכות לעבד את יהוה׃
23 Mukama ammazeemu amaanyi nga nkyali muvubuka; akendeezezza ku nnaku z’obulamu bwange.
ענה בדרך כחו קצר ימי׃
24 Ne ndyoka mmukaabira nti, “Ayi Katonda wange, tontwala nga nkyali mu makkati g’emyaka gy’obulamu bwange, ggw’abeera omulamu emirembe gyonna.
אמר אלי אל תעלני בחצי ימי בדור דורים שנותיך׃
25 Ku ntandikwa wassaawo omusingi gw’ensi; n’eggulu gy’emirimu gy’emikono gyo.
לפנים הארץ יסדת ומעשה ידיך שמים׃
26 Byonna biriggwaawo, naye ggwe oli wa lubeerera. Byonna birikaddiwa ng’ebyambalo. Olibikyusa ng’ebyambalo, ne bisuulibwa.
המה יאבדו ואתה תעמד וכלם כבגד יבלו כלבוש תחליפם ויחלפו׃
27 Naye ggwe tokyuka oli wa lubeerera n’emyaka gyo tegirikoma.
ואתה הוא ושנותיך לא יתמו׃
28 Abaana b’abaweereza bo baliba mu ddembe; ne bazzukulu baabwe banaabeeranga w’oli nga tebalina kye batya.”
בני עבדיך ישכונו וזרעם לפניך יכון׃

< Zabbuli 102 >