< Zabbuli 101 >
1 Zabbuli ya Dawudi. Nnaayimbanga ku kwagala kwo n’obutuukirivu bwo; nnaayimbiranga ggwe, Ayi Mukama.
2 Nneegenderezanga, mu bulamu bwange ne nkola eby’obutuukirivu, naye olijja ddi gye ndi? Nnaabeeranga mu nnyumba yange nga siriiko kya kunenyezebwa.
3 Sijjanga kwereetereza kintu kyonna ekibi. Nkyayira ddala ebikolwa by’abo abava mu kkubo lyo; sijjanga kubyeteekako.
4 Sijjanga kuba mukuusa; ekibi nnaakyewaliranga ddala.
5 Oyo alyolyoma muliraanwa we mu kyama, nnaamuzikiririzanga ddala; amaaso ag’amalala n’omutima ogw’amalala sijja kubigumiikirizanga.
6 Abeesigwa abali mu nsi yaffe nnaabasanyukiranga, balyoke babeerenga nange; akola eby’obutuukirivu y’anamperezanga.
7 Atayogera mazima taabeerenga mu nnyumba yange. Omuntu alimba sirimuganya kwongera kubeera nange.
8 Buli nkya nnaazikirizanga abakola ebibi bonna mu nsi, bwe ntyo abakozi b’ebibi ne mbamalirawo ddala mu kibuga kya Mukama.