< Zabbuli 100 >
1 Zabbuli ey’okwebaza. Muleetere Mukama eddoboozi ery’essanyu mmwe ensi zonna.
普世大地請向上主歡呼,
2 Muweereze Mukama n’essanyu; mujje mu maaso ge n’ennyimba ez’essanyu.
要興高彩烈地事奉上主;走到上主面前,應該歡呼!
3 Mumanye nga Mukama ye Katonda; ye yatutonda, tuli babe, tuli bantu be era endiga ez’omu ddundiro lye.
您們應該明認雅威就是天主,祂造成了我們,我們非祂莫屬;我們是祂的人民,是祂牧場的羊隊。
4 Muyingire mu miryango gye nga mwebaza, ne mu mpya ze n’okutendereza; mumwebaze mutendereze erinnya lye.
高唱感恩歌,邁向祂的大門,吟詠讚美詩,進入祂的庭院,向祂致謝,讚美祂的聖名。
5 Kubanga Mukama mulungi, n’okwagala kwe kwa lubeerera; n’obwesigwa bwe bwa mirembe gyonna.
因為上主良善寬仁,祂的慈愛直到永恒,祂的忠信世世常存。