< Engero 1 >

1 Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
משלי שלמה בן-דוד-- מלך ישראל
2 Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga, era n’okutegeera ebigambo eby’obulabufu; eby’obulamu eby’amagezi n’empisa.
לדעת חכמה ומוסר להבין אמרי בינה
3 Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi, okukolanga ebituufu, n’okubeera abenkanya n’okugobereranga ensonga;
לקחת מוסר השכל צדק ומשפט ומשרים
4 okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu, n’abavubuka okufuna okumanya n’okutegeera.
לתת לפתאים ערמה לנער דעת ומזמה
5 N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga n’abategeevu beeyongere okubangulwa.
ישמע חכם ויוסף לקח ונבון תחבלות יקנה
6 Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero, enjogera n’ebikokyo.
להבין משל ומליצה דברי חכמים וחידתם
7 Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, naye abasirusiru banyooma amagezi n’okulagirirwa.
יראת יהוה ראשית דעת חכמה ומוסר אוילים בזו
8 Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo, era tolekanga kukuutira kwa maama wo;
שמע בני מוסר אביך ואל-תטש תורת אמך
9 bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa, n’emikuufu mu bulago bwo.
כי לוית חן הם לראשך וענקים לגרגרתך
10 Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga, tokkirizanga.
בני-- אם-יפתוך חטאים אל-תבא
11 Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse, tunyage, tubbe n’okutta; tokkirizanga;
אם-יאמרו לכה אתנו נארבה לדם נצפנה לנקי חנם
12 ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu, era nga balamba, ng’abagenda mu bunnya obuwanvu; (Sheol h7585)
נבלעם כשאול חיים ותמימים כיורדי בור (Sheol h7585)
13 nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde, ne tujjuza amayumba gaffe obugagga obubbe;
כל-הון יקר נמצא נמלא בתינו שלל
14 ng’ababi batuyita tubeegatteko, tugabane kyenkanyi ebibbe n’ebinyage.”
גורלך תפיל בתוכנו כיס אחד יהיה לכלנו
15 Mwana wange totambuliranga wamu nabo, era ekigere kyo kiziyize okukwatanga ekkubo lyabwe:
בני--אל-תלך בדרך אתם מנע רגלך מנתיבתם
16 Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi, era kibanguyira okuyiwa omusaayi.
כי רגליהם לרע ירוצו וימהרו לשפך-דם
17 Nga kuba kumala biseera okutega omutego, ng’ekinyonyi ky’oyagala okukwata kikulaba,
כי-חנם מזרה הרשת-- בעיני כל-בעל כנף
18 naye abantu ng’abo baba beetega bokka, baba beetega omutego ogunaabakwasa bo bennyini.
והם לדמם יארבו יצפנו לנפשתם
19 Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu. Obugagga obw’engeri eyo busaanyaawo obulamu bw’abo ababufuna.
כן--ארחות כל-בצע בצע את-נפש בעליו יקח
20 Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo; gayimusa amaloboozi gaago, mu bifo ebigazi eby’omu bibuga.
חכמות בחוץ תרנה ברחבות תתן קולה
21 Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira, era gasinzira mu miryango gy’ekibuga ne googera:
בראש המיות תקרא בפתחי שערים בעיר--אמריה תאמר
22 Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi, nammwe ab’amalala okunyoomanga eby’amagezi n’abasirusiru okukyawanga okumanya?
עד-מתי פתים-- תאהבו-פתי ולצים--לצון חמדו להם וכסילים ישנאו-דעת
23 Kale singa muwuliriza okunenya kwange, laba, ndifuka omutima gwange n’ebirowoozo byange mu mmwe.
תשובו לתוכחתי הנה אביעה לכם רוחי אודיעה דברי אתכם
24 Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza, ne ngolola omukono ne wataba n’omu afaayo,
יען קראתי ותמאנו נטיתי ידי ואין מקשיב
25 era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa, era ne mugaana okubuulirira kwange kwonna,
ותפרעו כל-עצתי ותוכחתי לא אביתם
26 kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku, era mbakudaalire ng’entiisa ebagwiridde.
גם-אני באידכם אשחק אלעג בבא פחדכם
27 Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi, ennaku n’okubonaabona, okulumwa n’obubalagaze,
בבא כשאוה (כשואה) פחדכם-- ואידכם כסופה יאתה בבא עליכם צרה וצוקה
28 kale balinkoowoola, naye siriyitaba; balinnoonya obutaweera naye ne batandaba.
אז יקראנני ולא אענה ישחרנני ולא ימצאנני
29 Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya, era ne bamalirira obutatya Mukama.
תחת כי-שנאו דעת ויראת יהוה לא בחרו
30 Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange; ne banyooma okunenya kwange kwonna.
לא-אבו לעצתי נאצו כל-תוכחתי
31 Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi, era ne bajjula ebibala eby’enkwe zaabwe.
ויאכלו מפרי דרכם וממעצתיהם ישבעו
32 Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono n’obutafaayo bulizikiriza abasirusiru,
כי משובת פתים תהרגם ושלות כסילים תאבדם
33 naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe, ng’agumye nga talina kutya kwonna.
ושמע לי ישכן-בטח ושאנן מפחד רעה

< Engero 1 >