< Engero 9 >
1 Amagezi gazimbye ennyumba yaago, gagizimbidde ku mpagi musanvu.
2 Gategese ennyama yaago ne wayini waago; gategese ekijjulo.
3 Gatumye abawala abaweereza bakoowoolere mu bifo ebigulumivu nti,
4 “Buli atalina kutegeera akyameko wano!” Eri abo abatalina magezi gabagamba nti,
5 “Mujje mulye ku mmere yange era munywe ne ku nvinnyo gwe ntabudde.
6 Mulekeraawo obutaba na kutegeera mubeere balamu, era mutambulire mu kkubo ly’okumanya.”
7 Oyo anenya omunyoomi ayolekera kuvumwa, n’oyo abuulirira omukozi w’ebibi yeeretera kuvumibwa.
8 Tonenyanga munyoomi, aleme okukukyawa, naye nenya ow’amagezi naye anaakwagalanga.
9 Yigirizanga ow’amagezi naye aneeyongeranga okuba n’amagezi, yigirizanga omutuukirivu, aneeyongerangako okuyiga.
10 “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera, era n’okumanya oyo Omutukuvu Katonda, kwe kutegeera.
11 Ku lwange oliwangaala emyaka mingi nnyo, era olyongerwako emyaka.
12 Bw’obeera omugezi, amagezi go gakuyamba, naye bw’onyooma amagezi weerumya wekka.”
13 Omukazi omusirusiru aleekaana, taba na mpisa era taba na magezi!
14 Era atuula mu mulyango gw’ennyumba ye, ne ku ntebe mu bifo eby’ekibuga ebisinga obugulumivu,
15 ng’akoowoola abo abayitawo, ababa batambula amakubo gaabwe abali ku byabwe.
16 Abagamba nti, “Buli alina okumanya okutono ajje muno.” Era eri oyo atalina kutegeera agamba nti,
17 “Amazzi amabbe nga gawooma! emmere eriibwa mu kyama ng’ewooma!”
18 Naye oyo agwa mu kitimba kye tamanya nti nnyumba yakuzikirira, era nti abagenyi be bali mu buziba obw’emagombe. (Sheol )