< Engero 8 >
1 Amagezi tegakoowoolera waggulu, n’okutegeera ne kuyimusa eddoboozi lyakwo?
2 Ku ntikko y’ebifo ebigulumivu okumpi n’ekkubo, mu masaŋŋanzira, amagezi we gayimirira butengerera,
3 ku mabbali g’enzigi eziyingira mu kibuga, ku miryango, gakoowoolera waggulu nga gagamba nti,
4 Mmwe abantu, mmwe b’empita; nnyimusa eddoboozi lyange eri buli omu ali ku nsi.
5 Mmwe abatategeera mufune okutegeera; nammwe abasirusiru mufune amagezi.
6 Muwulirize kubanga nnina ebintu ebikulu eby’okubagamba, era mu kamwa kange muvaamu ebituufu.
7 Akamwa kange koogera bituufu byereere; kubanga emimwa gyange gikyawa ebitali bya butuukirivu.
8 Ebigambo by’emimwa gyange byonna bya bwenkanya tewali na kimu kikyamu oba kya bukuusa.
9 Ebigambo byange byonna bitegeerekeka eri oyo ategeera, era tebirina kabi eri oyo alina amagezi.
10 Mu kifo kya ffeeza, londawo okuyigiriza kwange, era n’okumanya mu kifo kya zaabu ennongoose obulungi,
11 kubanga amagezi gasinga amayinja ag’omuwendo omungi, era n’ebyo byonna bye weegomba tebiyinza kugeraageranyizibwa nago.
12 Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi, era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi; nkyawa amalala n’okwemanya, n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange; ntegeera era ndi wa buyinza.
15 Ku bwange, Magezi, bakabaka bafuga, abafuzi ne bakola amateeka ag’obwenkanya.
16 Abalangira bafuga ku bwange, n’abakungu bonna abafuga ku nsi.
17 Njagala abo abanjagala, n’abo abanyiikira okunnoonya bandaba.
18 Obugagga n’ekitiibwa biri mu nze, obugagga obutakoma n’okukulaakulana.
19 Ekibala kyange kisinga zaabu ennongoose, n’ebinvaamu bisinga ffeeza ey’omuwendo omungi.
20 Ntambulira mu kkubo ery’obutuukirivu, mu kkubo ery’obwenkanya,
21 n’abo abanjagala mbagaggawaza era nzijuza amawanika gaabwe.
22 Mukama nze gwe yasooka okwoleka nga tannabaako kirala ky’akola.
23 Nateekebwawo dda nnyo, ku lubereberye ng’ensi tennabaawo.
24 Nateekebwawo ng’obuziba bw’ennyanja tebunnateekebwawo, nga n’emigga egireeta amazzi teginnabaawo,
25 ng’ensozi tezinnateekebwa mu bifo byazo, nga n’obusozi tebunnabaawo;
26 nga tannakola nsi newaakubadde amalundiro gaakwo, wadde enfuufu eyasooka ey’oku nsi.
27 Naliwo ng’ateekawo eggulu mu kifo kyalyo, ne bwe yakola enkulungo kungulu ku buziba,
28 ate ne bwe yawanika ebire n’abinywereza waggulu mu bbanga, n’anywereza ddala ensulo z’amazzi,
29 bwe yawa ennyanja ensalo zaazo we zikoma, amazzi galeme kusukka we yagalagira, ne bwe yali ng’alamba emisingi gy’ensi.
30 Nnali naye ng’omukozi omukugu, nga nzijudde essanyu lye erya buli lunaku, nga nsanyukira mu maaso ge bulijjo,
31 nga nsanyukira mu nsi ye yonna, era nga ne nesiima olw’abaana b’abantu.
32 Kale nno, batabani bange mumpulirize; balina omukisa abo abakwata amakubo gange!
33 Muwulirizenga okuyigirizibwa, mubenga n’amagezi, so temugalekanga.
34 Alina omukisa omuntu ampuliriza, alindirira nga bw’akuuma ku nzigi zange buli lunaku.
35 Kubanga buli andaba afuna obulamu, era afuna okuganja eri Mukama.
36 Oyo atannoonya yeerumya yekka, era n’abo bonna abankyawa banoonya kufa.