< Engero 7 >
1 Mutabani nyweeza ebigambo byange, era okuumenga ebiragiro byange.
Hijo mío, acepta lo que te digo y saca provecho de mis instrucciones.
2 Kwata ebiragiro byange obeere mulamu, n’amateeka gange ogakuume ng’emmunye y’eriiso lyo;
Haz lo que te digo y vivirás. Observa mis enseñanzas, y estímalas como el objetivo principal de tu vida.
3 togalekanga kuva mu ngalo zo, gawandiike ku mutima gwo.
Átalas a tus dedos y escríbelas en tu mente.
4 Amagezi gatwalire ddala nga mwannyoko, n’okutegeera, ng’owooluganda ow’omu kika kyo.
A la sabiduría, dile: “Eres mi hermana”, y considera la inteligencia como tu mejor amiga.
5 Binaakuwonyanga omukazi omwenzi, omukazi omutambuze awaanawaana n’ebigambo ebisendasenda.
Ellas te protegerán de la mujer inmoral, y de la prostituta que viene a ti con palabras seductoras.
6 Lumu nnali nnyimiridde ku ddirisa ly’ennyumba yange.
Una vez miré a través de la ventana de mi casa,
7 Ne ndaba mu bavubuka abatoototo, omulenzi atalina magezi,
y vi entre los jóvenes inmaduros a uno que era totalmente insensato.
8 ng’ayita mu luguudo okumpi n’akafo k’omukazi omwenzi, n’akwata ekkubo eridda ku nnyumba y’omukazi oyo,
Este hombre caminaba por la calle cerca a la esquina de la casa de la prostituta, y tomó el sendero que pasaba por su casa.
9 olw’eggulo ng’obudde buzibye, ekizikiza nga kikutte.
Ya era la hora del crepúsculo, y la luz se desvanecía, mientras llegaba la oscuridad de la noche.
10 Awo omukazi n’ajja okumusisinkana ng’ayambadde nga malaaya, ng’ajjudde ebirowoozo eby’obukaba mu mutima gwe.
Entonces salió esta mujer a su encuentro. Estaba vestida como una prostituta con intenciones engañosas.
11 Omukazi omukalukalu, atambulatambula ennyo atabeerako waka,
(Era ruidosa y provocativa, sin deseo de quedarse en casa.
12 wuuyo mu luguudo, wuuyo mu bifo ebikuŋŋaanirwamu, mu buli kafo konna ng’ateega!
Por momentos caminaba por las calles, luego andaba por las plazas, vagabundeando en cada esquina).
13 N’amuvumbagira, n’amunywegera era ng’amutunuulidde nkaliriza n’amaaso agatatya n’amugamba nti:
Lo agarró y lo besó, y con osadía en su rostro, le dijo:
14 “Nnina ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe, leero ntukiriza obweyamo bwange.
“Ya presenté mi ofrenda de paz hoy, y pagué mis votos.
15 Noolwekyo nzize okukusisinkana, mbadde njagala nnyo okukulaba, era kaakano nkusanze.
Por eso vine a tu encuentro. ¡Te estaba buscando, y ahora te he encontrado!
16 Obuliri bwange mbwaze bulungi n’engoye eza linena ava mu Misiri.
Mi cama está lista, con sábanas de colores traídas desde Egipto.
17 Mbukubye n’akaloosa, n’omugavu, n’obubaane, ne kinamoni, ne kalifuuwa.
En mi cama he rociado perfume, aromas de mirra, aloe y canela.
18 Jjangu tuwoomerwe omukwano okutuusa obudde okukya; leka twesanyuse ffembi mu mukwano.
Ven conmigo, y hagamos el amor hasta el amanecer. ¡Disfrutemos el uno del otro haciendo el amor!
19 Kubanga baze taliiyo eka; yatambula olugendo luwanvu:
Mi esposo no está en casa, pues se ha ido a un largo viaje.
20 Yagenda n’ensawo y’ensimbi; era alikomawo nga wayiseewo wiiki bbiri.”
Se llevó una bolsa de dinero, y no volverá hasta la luna nueva”.
21 Yamusendasenda n’ebigambo ebisikiriza; n’amuwabya n’ebigambo ebiwoomerera.
Así lo convenció con sus palabras, y lo sedujo con su hablar.
22 Amangwago omuvubuka n’amugoberera ng’ente etwalibwa okuttibwa obanga empeewo egwa mu mutego,
Él la siguió de inmediato, como buey llevado al matadero. Como ciervo atrapado en una trampa
23 okutuusa akasaale lwe kafumita ekibumba kyayo, ng’akanyonyi bwe kanguwa okugwa mu mutego, so tamanyi ng’alifiirwa obulamu bwe.
hasta que una lanza traspasa su hígado, como un ave que vuela y queda atrapada, y no sabe que pagará con su vida.
24 Kaakano nno batabani bange mumpulirize, era musseeyo nnyo omwoyo eri ebigambo byange.
Así que escúchame ahora, hijo mío, y presta atención a lo que digo.
25 Temukkiriza mitima gyammwe kugoberera bigambo bye; temukkiriza bigere byammwe kukyamira mu makubo ge.
No pienses ni siquiera en seguir a tal mujer. No camines por su casa.
26 Kubanga bangi bazikiridde, ddala ab’amaanyi bangi bagudde.
Porque ella ha hecho caer a muchos hombres, y los ha destruido.
27 Ennyumba ye, lye kkubo eridda emagombe, nga likka mu bisenge eby’okufa. (Sheol )
Su casa conduce a la muerte, y en su planta baja se encuentran las moradas de la muerte. (Sheol )