< Engero 5 >

1 Mutabani, ossangayo omwoyo eri ebiragiro byange, era owulirizanga bulungi ebigambo byange eby’amagezi,
בְּ֭נִי לְחָכְמָתִ֣י הַקְשִׁ֑יבָה לִ֝תְבוּנָתִ֗י הַט־אָזְנֶֽךָ׃
2 olyoke oyige okusalawo okw’amagezi, era akamwa ko kavengamu eby’obutegevu.
לִשְׁמֹ֥ר מְזִמּ֑וֹת וְ֝דַ֗עַת שְׂפָתֶ֥יךָ יִנְצֹֽרוּ׃
3 Kubanga emimwa gy’omukazi omwenzi gitonnya omubisi gw’enjuki, n’ebigambo bye biweweevu okusinga omuzigo;
כִּ֤י נֹ֣פֶת תִּ֭טֹּפְנָה שִׂפְתֵ֣י זָרָ֑ה וְחָלָ֖ק מִשֶּׁ֣מֶן חִכָּֽהּ׃
4 naye enkomerero ya byonna, akaawa ng’omususa era asala ng’ekitala eky’obwogi obubiri.
וְֽ֭אַחֲרִיתָהּ מָרָ֣ה כַֽלַּעֲנָ֑ה חַ֝דָּ֗ה כְּחֶ֣רֶב פִּיּֽוֹת׃
5 Ebigere bye bituuka mu kufa, ebisinde bye biraga emagombe. (Sheol h7585)
רַ֭גְלֶיהָ יֹרְד֣וֹת מָ֑וֶת שְׁ֝א֗וֹל צְעָדֶ֥יהָ יִתְמֹֽכוּ׃ (Sheol h7585)
6 Tafaayo ku kkubo lya bulamu, amakubo ge gaakyamakyama dda, naye nga takimanyi.
אֹ֣רַח חַ֭יִּים פֶּן־תְּפַלֵּ֑ס נָע֥וּ מַ֝עְגְּלֹתֶ֗יהָ לֹ֣א תֵדָֽע׃ פ
7 Kaakano, batabani bange mumpulirize, temuvanga ku bigambo bya kamwa kange.
וְעַתָּ֣ה בָ֭נִים שִׁמְעוּ־לִ֑י וְאַל־תָּ֝ס֗וּרוּ מֵאִמְרֵי־פִֽי׃
8 Mwewalenga omukazi oyo era temusembereranga luggi lwa nnyumba ye;
הַרְחֵ֣ק מֵעָלֶ֣יהָ דַרְכֶּ֑ךָ וְאַל־תִּ֝קְרַ֗ב אֶל־פֶּ֥תַח בֵּיתָֽהּ׃
9 si kulwa nga mufiirwa ekitiibwa kyammwe, n’okumalira ebiseera byammwe ku oyo alina ettima,
פֶּן־תִּתֵּ֣ן לַאֲחֵרִ֣ים הוֹדֶ֑ךָ וּ֝שְׁנֹתֶ֗יךָ לְאַכְזָרִֽי׃
10 ate si kulwa nga b’otolina ky’obamanyiiko bakwavuwaza, n’amaanyi go n’ogamalira ku maka g’omulala.
פֶּֽן־יִשְׂבְּע֣וּ זָרִ֣ים כֹּחֶ֑ךָ וַ֝עֲצָבֶ֗יךָ בְּבֵ֣ית נָכְרִֽי׃
11 Ku nkomerero y’obulamu bwo olisinda, ennyama yo n’omubiri gwo nga biweddewo.
וְנָהַמְתָּ֥ בְאַחֲרִיתֶ֑ךָ בִּכְל֥וֹת בְּ֝שָׂרְךָ֗ וּשְׁאֵרֶֽךָ׃
12 Oligamba nti, “Nga nakyawa okulabulwa, n’omutima gwange ne gukyawa okunenyezebwa,
וְֽאָמַרְתָּ֗ אֵ֭יךְ שָׂנֵ֣אתִי מוּסָ֑ר וְ֝תוֹכַ֗חַת נָאַ֥ץ לִבִּֽי׃
13 era ne sigondera ddoboozi ly’abasomesa bange, wadde okussaayo omwoyo eri abo abampanga amagezi.
וְֽלֹא־שָׁ֭מַעְתִּי בְּק֣וֹל מוֹרָ֑י וְ֝לִֽמְלַמְּדַ֗י לֹא־הִטִּ֥יתִי אָזְנִֽי׃
14 Ntuuse ku njegoyego z’okuzikirira nga ndi wakati mu kuŋŋaaniro ly’ekibiina.”
כִּ֭מְעַט הָיִ֣יתִי בְכָל־רָ֑ע בְּת֖וֹךְ קָהָ֣ל וְעֵדָֽה׃
15 Onoonywanga amazzi ag’omu kidiba kyo, n’amazzi agava mu luzzi lwo goonoonywanga.
שְׁתֵה־מַ֥יִם מִבּוֹרֶ֑ךָ וְ֝נֹזְלִ֗ים מִתּ֥וֹךְ בְּאֵרֶֽךָ׃
16 Ensulo zo zisaanye okukulukutira mu nguudo, n’enzizi zo mu bifo ebigazi eby’omu kibuga?
יָפ֣וּצוּ מַעְיְנֹתֶ֣יךָ ח֑וּצָה בָּ֝רְחֹב֗וֹת פַּלְגֵי־מָֽיִם׃
17 Leka bibeere bibyo wekka, bireme kugabanibwako b’otomanyiiko n’akamu.
יִֽהְיוּ־לְךָ֥ לְבַדֶּ֑ךָ וְאֵ֖ין לְזָרִ֣ים אִתָּֽךְ׃
18 Kale leka ensulo yo ebeere n’omukisa, era osanyuke ne mukazi wo ow’omu buvubuka bwo.
יְהִֽי־מְקוֹרְךָ֥ בָר֑וּךְ וּ֝שְׂמַ֗ח מֵאֵ֥שֶׁת נְעוּרֶֽךָ׃
19 Ng’ennangaazi eyeeyagaza n’empeewo esanyusa, leka okusuuta kwe kukumalenga ennaku zonna era naye akwetoloozenga okwagala kwe.
אַיֶּ֥לֶת אֲהָבִ֗ים וְֽיַעֲלַ֫ת־חֵ֥ן דַּ֭דֶּיהָ יְרַוֻּ֣ךָ בְכָל־עֵ֑ת בְּ֝אַהֲבָתָ֗הּ תִּשְׁגֶּ֥ה תָמִֽיד׃
20 Lwaki mwana wange osendebwasendebwa omukazi omwenzi, n’ogwa mu kifuba ky’omukazi w’omusajja omulala?
וְלָ֤מָּה תִשְׁגֶּ֣ה בְנִ֣י בְזָרָ֑ה וּ֝תְחַבֵּ֗ק חֵ֣ק נָכְרִיָּֽה׃
21 Kubanga Mukama alaba amakubo g’omuntu gonna, era n’akebera n’amakubo ge gonna.
כִּ֤י נֹ֨כַח ׀ עֵינֵ֣י יְ֭הוָה דַּרְכֵי־אִ֑ישׁ וְֽכָל־מַעְגְּלֹתָ֥יו מְפַלֵּֽס׃
22 Ebikolwa by’omukozi w’ebibi bimufuukira omutego, era emiguwa gy’ebikolwa bye ebibi girimusibira ddala.
עַֽווֹנוֹתָ֗יו יִלְכְּדֻנ֥וֹ אֶת־הָרָשָׁ֑ע וּבְחַבְלֵ֥י חַ֝טָּאת֗וֹ יִתָּמֵֽךְ׃
23 Alifa, kubanga yagaana okwekuuma, era alizikirira olw’obusirusiru bwe obungi.
ה֗וּא יָ֭מוּת בְּאֵ֣ין מוּסָ֑ר וּבְרֹ֖ב אִוַּלְתּ֣וֹ יִשְׁגֶּֽה׃ פ

< Engero 5 >