< Engero 4 >
1 Muwulirize baana bange okuyigiriza kwange ng’okwa kitammwe, era musseeyo omwoyo mufune okutegeera.
2 Kubanga mbawa okuyigiriza okulungi; temulekanga biragiro byange.
3 Bwe nnali omuvubuka nga ndi ne kitange, omwana omu yekka omwagalwa, owa mmange,
4 yanjigiriza n’aŋŋamba nti, “Ebigambo byange bikuumenga ku mutima gwo, kuuma ebiragiro byange obeere mulamu.
5 Funa amagezi; funa okutegeera, teweerabiranga era tovanga ku bigambo bya mu kamwa kange.
6 Togalekanga, nago ganaakukuumanga, gaagale nago ganaakulabiriranga.
7 Ddala amagezi kye kintu ekisingira ddala obukulu; noolwekyo fuba ofune amagezi, era fubira ddala nnyo ofune okutegeera.
8 Amagezi gagulumize, nago gajja kukuyimusa, gaanirize, nago gajja kukuweesa ekitiibwa.
9 Amagezi gajja kukutikkira engule ey’ekisa, era gakuwe n’engule ey’ekitiibwa.”
10 Wuliriza ggwe, mutabani, era okkirize ebigambo byange olyoke owangaalire ku nsi n’essanyu eringi.
11 Nkuluŋŋamya mu kkubo ery’amagezi, ne nkukulembera mu makubo ag’obutuukirivu.
12 Bw’onootambulanga, ekigere kyo kireme okuziyizibwa; era bw’onoddukanga, tojjanga kwesittala.
13 Nywerezanga ddala okuyigirizibwa, tokutanga: kukuumenga kubanga bwe bulamu bwo.
14 Toyingiranga mu kkubo ly’abakozi b’ebibi, wadde okutambulira mu kkubo ly’abantu aboonoonyi.
15 Lyewalenga, tolitambulirangamu, liveeko okwate ekkubo lyo.
16 Kubanga abakozi b’ebibi tebayinza kwebaka okuggyako nga bakoze ebibi, era otulo tubabulira ddala bwe baba tebalina gwe bakozeeko bulabe.
17 Okukola ebibi y’emmere yaabwe, n’okukozesa eryanyi kye kyokunywa kyabwe.
18 Ekkubo ly’abatuukirivu liri ng’enjuba eyakavaayo, eyeeyongera okwaka okutuusa obudde lwe butangaalira ddala.
19 Naye ekkubo ly’ababi liri ng’ekizikiza ekikutte, tebamanyi kibaleetera kwesittala.
20 Mutabani wange wuliriza n’obwegendereza ebigambo byange; osseeyo omwoyo eri bye nkutegeeza;
21 ebigambo bino tebikuvangako, bikuumire ddala mu mutima gwo,
22 kubanga bya bulamu eri abo ababifuna, era biwonya omubiri gwabwe gwonna.
23 Ekisinga byonna kuuma omutima gwo, kubanga y’ensulo y’obulamu bwo.
24 Weewalire ddala eby’obubambavu era n’okwogera ebya swakaba.
25 Amaaso go gatunulenga butereevu, era otunulenga n’obumalirivu eyo gy’olaga.
26 Ttereeza bulungi amakubo go; okwate amakubo ageesigika gokka.
27 Tokyamanga ku mukono ogwa ddyo oba ogwa kkono; ebigere byo byewalenga ekkubo ekyamu.