< Engero 31 >
1 Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
Verba Lamuelis regis. Visio, qua erudivit eum mater sua.
2 Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange, ggwe mutabani w’obweyamo bwange.
Quid dilecte mi, quid dilecte uteri mei, quid dilecte votorum meorum?
3 Tomaliranga maanyi go ku bakazi, newaakubadde amaanyi go ku abo abazikiriza bakabaka.
Ne dederis mulieribus substantiam tuam, et divitias tuas ad delendos reges.
4 Ggwe Lemweri, si kya bakabaka, si kya bakabaka okunywanga omwenge, so si kya balangira okwegombanga omwenge,
Noli regibus, o Lamuel, noli regibus dare vinum: quia nullum secretum est ubi regnat ebrietas.
5 si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka, ne batalamula mu bwenkanya abantu baabwe abatulugunyizibwa.
et ne forte bibant, et obliviscantur iudiciorum, et mutent causam filiorum pauperis.
6 Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa, n’omwenge oyo alina emmeeme eriko obuyinike.
Date siceram mœrentibus, et vinum his, qui amaro sunt animo:
7 Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe, alemenga kujjukira nate buyinike bwe.
bibant, et obliviscantur egestatis suæ, et doloris sui non recordentur amplius.
8 Yogereranga abo abatasobola kweyogerera, otunulenga mu nsonga z’abo bonna abaasigala ettayo.
Aperi os tuum muto, et causis omnium filiorum qui pertranseunt:
9 Yogera olamulenga n’obwenkanya, olwanirirenga abaavu n’abali mu bwetaavu.
aperi os tuum, decerne quod iustum est, et iudica inopem et pauperem.
10 Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba? Wa muwendo nnyo okusinga amayinja ag’omuwendo ennyo.
Mulierem fortem quis inveniet? procul, et de ultimis finibus pretium eius.
11 Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna, era bba talina kyonna kya muwendo ky’abulwa.
Confidit in ea cor viri sui, et spoliis non indigebit.
12 Aleetera bba essanyu so tamukola kabi, obulamu bwe bwonna.
Reddet ei bonum, et non malum, omnibus diebus vitæ suæ.
13 Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba, n’akola emirimu gye mu ssanyu eritayogerekeka.
Quæsivit lanam et linum, et operata est consilia manuum suarum.
14 Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi, aleeta emmere okuva mu nsi ezeewala.
Facta est quasi navis institoris, de longe portans panem suum.
15 Agolokoka tebunnakya, n’awa ab’omu nnyumba ye ebyokulya, n’agabira abaweereza be abawala be abaweereza emirimu egy’okukola.
Et de nocte surrexit, deditque prædam domesticis suis, et cibaria ancillis suis.
16 Alowooza ku nnimiro n’agigula; asimba ennimiro ey’emizabbibu n’ebibala by’emikono gye.
Consideravit agrum, et emit eum: de fructu manuum suarum plantavit vineam.
17 Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe, emikono gye gikwata n’amaanyi emirimu gye.
Accinxit fortitudine lumbos suos, et roboravit brachium suum.
18 Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula, era n’ettabaaza ye ekiro tezikira.
Gustavit, et vidit quia bona est negotiatio eius: non extinguetur in nocte lucerna eius.
19 Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe, engalo ze ne zikwata akati akalanga.
Manum suam misit ad fortia, et digiti eius apprehenderunt fusum.
20 Ayanjululiza abaavu omukono gwe, n’agololera omukono gwe oyo ali mu bwetaavu.
Manum suam aperuit inopi, et palmas suas extendit ad pauperem.
21 Mu biseera by’obutiti taba na kutya, kubanga ab’omu nnyumba ye bonna baba n’engoye ez’okwambala.
Non timebit domui suæ a frigoribus nivis: omnes enim domestici eius vestiti sunt duplicibus.
22 Yeekolera ebibikka obuliri bwe, era engoye ze za linena omulungi, za ffulungu.
Stragulatam vestem fecit sibi: byssus, et purpura indumentum eius.
23 Bba amanyibbwa, y’omu ku bakulu abakulembera ensi, era ateeseza mu nkiiko enkulu.
Nobilis in portis vir eius, quando sederit cum senatoribus terræ.
24 Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda, n’aguza abasuubuzi enkoba.
Sindonem fecit, et vendidit, et cingulum tradidit Chananæo.
25 Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye, era tatya ebiro ebigenda okujja.
Fortitudo et decor indumentum eius, et ridebit in die novissimo.
26 Ayogera n’amagezi, era ayigiriza ebyekisa.
Os suum aperuit sapientiæ, et lex clementiæ in lingua eius.
27 Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye, era talya mmere ya bugayaavu.
Consideravit semitas domus suæ, et panem otiosa non comedit.
28 Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa, ne bba n’amutendereza ng’ayogera nti,
Surrexerunt filii eius, et beatissimam prædicaverunt: vir eius, et laudavit eam.
29 “Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa naye bonna ggwe obasinga.”
Multæ filiæ congregaverunt divitias: tu supergressa es universas.
30 Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa, naye omukazi atya Mukama anaatenderezebwanga.
Fallax gratia, et vana est pulchritudo: mulier timens Dominum ipsa laudabitur.
31 Mumusasule empeera gy’akoleredde, n’emirimu gye gimuweesenga ettendo ku miryango gy’ekibuga.
Date ei de fructu manuum suarum: et laudent eam in portis opera eius.