< Engero 3 >
1 Mwana wange, teweerabiranga bintu bye nakuyigiriza, era okuumanga ebiragiro byange mu mutima gwo,
2 kubanga bijja kuwangaaza obulamu bwo ku nsi, era bikukulaakulanye.
3 Amazima n’ekisa tobyerabiranga; byesibe mu bulago bwo, obiwandiike ku mutima gwo.
4 Bw’otyo bw’onoofuna okuganja n’okusiimibwa eri Katonda n’eri abantu.
5 Weesige Mukama n’omutima gwo gwonna, so teweesigamanga ku magezi go gokka.
6 Mukama mukulembezenga mu by’okola byonna, naye anaakuluŋŋamyanga n’owangula.
7 Amagezi go tegakusigulanga, naye otyanga Mukama, era weewale okukola ebibi.
8 Onoofunanga obulamu mu mubiri gwo n’amagumba go ne gadda buggya.
9 Mukama mugulumizenga n’eby’obugagga byo; n’ebibala ebisooka eby’ebintu byo byonna eby’omu nnimiro yo,
10 olwo amaterekero go lwe ganajjulanga ebintu enkumu, era n’amasenero go ne gajjula ne gabooga omwenge omusu.
11 Mwana wange tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, n’okunenya kwe kulemenga okukukooya,
12 kubanga Mukama anenya oyo gw’ayagala, nga kitaawe w’omwana bw’anenya mutabani we gwe yeenyumiririzaamu.
13 Aweereddwa omukisa oyo afuna amagezi, omuntu oyo afuna okutegeera,
14 kubanga amagezi gasinga ffeeza era galimu amagoba okusinga zaabu.
15 Amagezi ga muwendo mungi okusinga amayinja ag’omuwendo omungi: era tewali kyegombebwa kiyinza kugeraageranyizibwa nago.
16 Mu mukono gwago ogwa ddyo mwe muli obuwanguzi; ne mu mukono gwago ogwa kkono ne mubaamu obugagga n’ekitiibwa.
17 Mu magezi mulimu essanyu, era n’amakubo gaago ga mirembe.
18 Amagezi muti gwa bulamu eri abo abagakwata ne baganyweza; abo abagakwata ne baganyweza baliweebwa omukisa.
19 Amagezi, Mukama ge yakozesa okuteekawo emisingi gy’ensi; n’okutegeera kwe yakozesa okuteekawo eggulu;
20 n’okumanya kwe, kwe yakozesa okwawula obuziba bw’ennyanja, era n’ebire ne bivaamu omusulo.
21 Mwana wange, beeranga n’okuteesa okulungi n’okusalawo ebisaana, ebyo biremenga okukuvaako,
22 binaabeeranga obulamu eri emmeeme yo, era ekyokwambala ekirungi ekinaawoomesanga obulago bwo.
23 Bw’otyo bw’onootambulanga nga onyweredde mu kkubo lyo, era ekigere kyo tekijjanga kwesittala.
24 Bw’onoogalamiranga toobenga na kutya, weewaawo bw’oneebakanga otulo tunaakuwoomeranga.
25 Totyanga kabenje kootomanyiridde, wadde okuzikirira okujjira abakozi b’ebibi,
26 Kubanga Mukama y’anaabeeranga obwesigwa bwo, era anaalabiriranga ekigere kyo ne kitakwatibwa mu mutego.
27 Tommanga birungi abo be bisaanira bwe kibeera mu buyinza bwo okukikola.
28 Togambanga muliraanwa wo nti, “Genda, onodda enkya ne nkuwa,” ate nga kye yeetaaga okirina.
29 Totegekanga kukola bulabe ku muliraanwa wo, atudde emirembe ng’akwesiga.
30 Tovunaananga muntu n’omu awatali nsonga nga talina kabi k’akukoze.
31 Tokwatirwanga obuggya omuntu ayigganya abalala, era tokolanga nga ye bw’akola,
32 kubanga omuntu omugwagwa wa muzizo eri Mukama, naye abo abagolokofu abalinamu obwesige.
33 Ekikolimo kya Mukama kiri ku nnyumba y’ababi, naye awa omukisa ennyumba y’abatuukirivu.
34 Ddala ddala, Mukama anyooma abanyoomi, naye abeetoowaza abawa ekisa.
35 Ab’amagezi balisikira ekitiibwa, naye abasirusiru baliswazibwa.