< Engero 27 >

1 Teweenyumirizanga mu bya nkya, kubanga olunaku bye lunaaleeta tobimanyi.
NO te jactes del día de mañana; porque no sabes qué dará de sí el día.
2 Leka omulala akutenderezenga so si kamwa ko ggwe, omuntu omulala so si mimwa gyo.
Alábete el extraño, y no tu boca; el ajeno, y no tus labios.
3 Ejjinja lizitowa, n’omusenyu muzito, naye obulumbaganyi bw’omusirusiru businga byonna okuzitowa.
Pesada es la piedra, y la arena pesa; mas la ira del necio es más pesada que ambas cosas.
4 Obusungu bwa ttima, n’ekiruyi kifugira ddala nnyo, naye ani ayinza okwolekera amaaso g’obuggya?
Cruel es la ira, é impetuoso el furor; mas ¿quién parará delante de la envidia?
5 Okunenya mu lwatu, kisinga okwagala okukisibbwa.
Mejor es reprensión manifiesta que amor oculto.
6 Okunywegera kw’omulabe kwandiba okungi, naye ebiwundu by’okunenya kw’owoomukwano tebitiisa.
Fieles son las heridas del que ama; pero importunos los besos del que aborrece.
7 Oyo akkuse akyawa omubisi gw’enjuki, naye eri omuyala n’ekikaawa kiba kiwoomerera.
El alma harta huella el panal de miel; mas al alma hambrienta todo lo amargo es dulce.
8 Ng’akanyonyi akadduka mu kisu kyako, bw’atyo bw’abeera omuntu abula mu maka ge.
Cual ave que se va de su nido, tal es el hombre que se va de su lugar.
9 Ebyakaloosa bisanyusa omutima, n’obuwoomerevu bw’omukwano gw’omuntu bwe butyo bwe buvaamu okubuulirira okw’amazima.
El ungüento y el perfume alegran el corazón: y el amigo al hombre con el cordial consejo.
10 Mukwano gwo ne mukwano gwa kitaawo tobaabuuliranga, olemenga okutawaana okuswala ewa muganda wo ng’ogudde mu mitawaana. Muliraanwa wo akira muganda wo akuli ewala.
No dejes á tu amigo, ni al amigo de tu padre; ni entres en casa de tu hermano el día de tu aflicción: mejor es el vecino cerca que el hermano lejano.
11 Beeranga n’amagezi mwana wange, osanyusenga omutima gwange, ndyoke nyanukule oyo yenna ansekerera.
Sé sabio, hijo mío, y alegra mi corazón, y tendré qué responder al que me deshonrare.
12 Omuntu omutegeevu alaba akabenje ne yeekweka, naye abatalina magezi batambula butambuzi ne bagwa mu kabi.
El avisado ve el mal, [y] escóndese; [mas] los simples pasan, [y] llevan el daño.
13 Twalanga ekyambalo ky’oyo eyeeyimirira gw’atamanyi, era kwatanga eky’oyo eyeeyimirira omukazi omwenzi kye yeeyamye.
Quítale su ropa al que fió al extraño; y [al que fió] á la extraña, tómale prenda.
14 Okulamusa ku muliraanwa wo mu makya ennyo, ng’oleekaana, obanga amukolimidde.
El que bendice á su amigo en alta voz, madrugando de mañana, por maldición se le contará.
15 Omukazi omuyombi ali ng’enkuba etonnya olutata, ku lunaku olw’enkuba ennyingi.
Gotera continua en tiempo de lluvia, y la mujer rencillosa, son semejantes:
16 Okumuziyiza obanga aziyiza empewo oba ng’anyweza omuzigo mu ngalo.
El que pretende contenerla, arresta el viento: ó el aceite en su mano derecha.
17 Ng’ekyuma bwe kiwagala ekyuma, n’omuntu bw’abangula muntu munne.
Hierro con hierro se aguza; y el hombre aguza el rostro de su amigo.
18 Buli alabirira omutiini alirya ku bibala byagwo, n’oyo aweereza mukama we alissibwamu ekitiibwa.
El que guarda la higuera, comerá su fruto; y el que guarda á su señor, será honrado.
19 Ng’amazzi bwe galaga omuntu bw’afaanana mu maaso, bwe gutyo omutima gw’omuntu bwe gulaga omuntu bw’afaanana.
Como un agua se parece á otra, así el corazón del hombre al otro.
20 Amagombe ne ggeyeena tebikkuta, n’amaaso g’abantu nago bwe gatyo tegakkuta. (Sheol h7585)
El sepulcro y la perdición nunca se hartan: así los ojos del hombre nunca están satisfechos. (Sheol h7585)
21 Entamu erongoosa ya ffeeza n’ekikoomi kikola ku zaabu, naye omuntu ekimugezesa kutenderezebwa.
El crisol [prueba] la plata, y la hornaza el oro: y al hombre la boca del que lo alaba.
22 Ne bw’osekula omusirusiru mu kinu, nga bw’osekula emmere y’empeke mu kinu, obusirusiru bwe tobumuggyaamu.
Aunque majes al necio en un mortero entre granos de trigo á pisón majados, no se quitará de él su necedad.
23 Okakasanga nti omanyi bulungi embeera z’ekisibo kyo, ossangayo omwoyo ku ggana lyo.
Considera atentamente el aspecto de tus ovejas; pon tu corazón á tus rebaños:
24 Kubanga eby’obugagga tebibeerera mirembe gyonna, n’engule tebeerera mirembe gyonna.
Porque las riquezas no son para siempre; ¿y [será] la corona para perpetuas generaciones?
25 Ng’omuddo gw’ensolo omukulu gumaze okusalibwawo, ng’omutoototo gutandise okusibukawo, nga n’omuddo ogw’omu busozi guleeteddwa,
Saldrá la grama, aparecerá la hierba, y segaránse las hierbas de los montes.
26 abaana b’endiga balikuwa engoye ez’okwambala, n’embuzi ziritundibwa ne zivaamu ensimbi.
Los corderos para tus vestidos, y los cabritos para el precio del campo:
27 Olibeera n’amata mangi g’onoggyanga mu mbuzi, okukuliisa ggwe n’ab’omu nnyumba yo, n’okuliisa abaweereza bo abawala.
Y abundancia de leche de las cabras para tu mantenimiento, y para mantenimiento de tu casa, y para sustento de tus criadas.

< Engero 27 >