< Engero 26 >
1 Ng’omuzira bwe gutasaana mu biseera bya kusiga oba enkuba mu makungula, n’ekitiibwa bwe kitasaanira musirusiru.
2 Ng’enkazaluggya ewabye, ng’akataayi akabuukabuuka, ekikolimo ekitasaanidde tekibaako kye kikola.
3 Embooko ya mbalaasi, n’olukoba lwa ndogoyi, n’omuggo gusaanira migongo gya basirusirusiru.
4 Toyanukulanga musirusiru ng’obusirusiru bwe, bwe buli, oleme kubeera nga ye.
5 Omusirusiru omuddangamu ng’obusirusiru bwe, bwe buli, si kulwa nga yeerowooza nti mugezi.
6 Omuntu atuma omusirusiru, aba ng’eyeetemyeko ebigere n’anywa obusungu.
7 Ng’amagulu g’omulema bwe galengejja obulengezzi, bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’omusirusiru.
8 Ng’atadde ejjinja mu nvuumuulo bw’aba, n’oyo awa omusirusiru ekitiibwa bw’atyo bw’abeera.
9 Ng’eriggwa bwe lifumita mu mukono gw’omutamiivu, bwe lutyo n’olugero bwe lubeera mu kamwa k’abasirusiru.
10 Ng’omulasi w’akasaale, amala galasa buli gw’asanze, bw’abeera bw’atyo apangisa omusirusiru oba omuyise yenna gw’asanze.
11 Ng’embwa bw’eddira ebisesemye by’ayo, bw’atyo bw’abeera omusirusiru adda mu nsobi ze.
12 Olaba omuntu omugezi mu maaso ge ye? Omusirusiru alina essuubi okumusinga.
13 Omugayaavu agamba nti, “Mu kkubo eriyo empologoma, empologoma enkambwe eyita mu luguudo!”
14 Ng’oluggi bwe lukyukira ku ppata zaalwo, bw’atyo omugayaavu bw’akyukira ku kitanda kye.
15 Omugayaavu akoza n’engalo ze mu kibya, naye olw’obunafu bwe n’atasobola kuzizza mu kamwa.
16 Omugayaavu alowooza nti mugezi, okusinga abantu omusanvu abaddamu ebibuuzo mu butuufu.
17 Ng’asika embwa amatu, omuyise bw’abeera eyeeyingiza mu luyombo olutali lulwe.
18 Ng’omulalu akasuka emmuli ez’omuliro oba obusaale obutta,
19 bw’abeera omuntu alimba munne, n’agamba nti, “Mbadde nsaaga busaazi.”
20 Enku bwe zibula omuliro guzikira, awatali lugambo ennyombo ziggwaawo.
21 Ng’amanda ku gannaago agaliko omuliro, oba enku ku muliro, bw’abeera omusajja omuyombi mu kuwakula entalo.
22 Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera, bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
23 Ng’ekintu eky’ebbumba ekibikkiddwako amasengere, bwe gibeera emimwa eminyiikivu egisibuka ku mutima omubi.
24 Omuntu ow’enkwe alimbalimba n’emimwa gye naye ng’aterese obulimba mu mutima gwe.
25 Wadde nga by’ayogera bisanyusa, tomukkiririzaamu kubanga eby’emizizo musanvu bijjuza mu mutima gwe.
26 Enkwe ze ziyinza okubikkibwa mu kubuzaabuuza, naye obutali butuukirivu bwe buliggyibwayo mu lukuŋŋaana.
27 Buli asima ekinnya y’alikigwamu, n’oyo aliyiringisa ejjinja gwe liriddira.
28 Olulimi olulimba lukyawa abo be lufumita, n’akamwa akawaanawaana kaleeta okuzikirira.