< Engero 25 >
1 Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
2 Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda, naye okunoonyereza ensonga kitiibwa kya bakabaka.
3 Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi, bwe gityo n’emitima gya bakabaka bwe gitategeerekeka.
4 Effeeza giggyeemu ebisejja, olyoke ofune omuweesi ky’anaakozesa.
5 Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka, entebe ye ey’obwakabaka eryoke enywezebwe mu butuukirivu.
6 Teweekuzanga mu maaso ga kabaka, wadde okwewa ekifo mu bantu ab’ekitiibwa.
7 Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,” kisingako okukuswaza mu maaso g’ow’ekitiibwa.
8 Amaaso go bye galabye tobyanguyirizanga kubireeta mu mbuga, kubanga oluvannyuma onookola otya munno bw’anaakuswaza?
9 Bw’owozanga ne muliraanwa wo, tobikkulanga kyama kya muntu mulala,
10 akiwulira aleme okukuswaza; n’onyoomebwa ebbanga lyonna.
11 Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde, kiba kya muwendo nnyo nga zaabu gwe batonye mu bintu bye bakoze mu ffeeza.
12 Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi, bw’atyo omuntu ow’amagezi anenya, bw’abeera eri okutu okuwuliriza.
13 Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu, bw’atyo bw’abeera omubaka omwesigwa eri abo abamutuma, aweweeza emmeeme ya bakama be.
14 Ng’ebire n’empewo omutali nkuba, omuntu asuubiza ebirabo by’atagaba bw’abeera.
15 Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi, n’olulimi olw’eggonjebwa lumenya eggumba.
16 Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala, si kulwa ng’ogukkuta nnyo n’ogusesema.
17 Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo, si kulwa ng’akwetamwa n’akukyawa.
18 Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we, ali ng’embuukuuli, oba ekitala, oba akasaale akoogi.
19 Okwesiga omuntu ateesigika, kiri ng’oli alina erinnyo eddwadde oba ekigere ekirema.
20 Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti, era ng’omwenge omukaatuufu bwe guteekebwako oluvu, bw’atyo bw’abeera ayimbira oyo ali mu buyinike.
21 Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye, bw’aba alumwa ennyonta muwe amazzi anywe.
22 Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe, era Mukama alikuwa empeera.
23 Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba, n’olulimi oluyomba bwe luleetera omuntu obusungu.
24 Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi mu nnyumba.
25 Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta, bwe gatyo bwe gaba amawulire amalungi agava mu nsi ey’ewala.
26 Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese, bw’atyo bw’abeera omutuukirivu eyeewaayo eri omukozi w’ebibi.
27 Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi, bwe kityo si kirungi omuntu okwenoonyeza ekitiibwa.
28 Omuntu ateefuga ali ng’ekibuga ekimenyeemenye ne kirekebwa nga tekirina bbugwe.