< Engero 24 >

1 Teweegombanga bakozi ba bibi era tobeesemberezanga.
Do not envy wicked men or desire their company;
2 Kubanga emitima gyabwe giteesa kukola bya butemu, era akamwa kaabwe koogera ku kukola bya ffujjo.
for their hearts devise violence, and their lips declare trouble.
3 Amagezi ge gazimba ennyumba, n’okutegeera kwe kugiggumiza.
By wisdom a house is built and by understanding it is established;
4 Olw’amagezi ebisenge by’ayo bijjula ebintu ebirungi, eby’obugagga ebitalabikalabika eby’omuwendo omungi.
through knowledge its rooms are filled with every precious and beautiful treasure.
5 Omuntu ow’amagezi aba n’obuyinza, n’omuntu alina okumanya yeeyongera amaanyi.
A wise man is strong, and a man of knowledge enhances his strength.
6 Kubanga okulwana olutalo weetaaga okuluŋŋamizibwa, n’okuluwangula, weetaaga abawi b’amagezi bangi.
Only with sound guidance should you wage war, and victory lies in a multitude of counselors.
7 Amagezi gasukkirira nnyo omusirusiru, talina ky’asobola kwogera mu lukuŋŋaana olw’oku wankaaki.
Wisdom is too high for a fool; he does not open his mouth in the meeting place.
8 Oyo asala enkwe ez’okukola ebibi, aliyitibwa mukujjukujju.
He who plots evil will be called a schemer.
9 Entegeka ez’obusirusiru muvaamu kwonoona, abantu beetamwa omukudaazi.
A foolish scheme is sin, and a mocker is detestable to men.
10 Bw’oyongobera mu kiseera eky’ebizibu, olwo ng’olina amaanyi matono!
If you faint in the day of distress, how small is your strength!
11 Odduukiriranga n’owonya abo abatwalibwa okuttibwa, n’abo abali ku njegoyego z’okuttibwa, obawonye okuttirwa obwemage.
Rescue those being led away to death, and restrain those stumbling toward the slaughter.
12 Bw’ogambanga nti, “Laba kino twali tetukimanyi,” oyo akebera emitima aba talaba? Oyo akuuma obulamu bwo takimanyi? Talisasula buli muntu ng’omulimu gwe bwe guli?
If you say, “Behold, we did not know about this,” does not He who weighs hearts consider it? Does not the One who guards your life know? Will He not repay a man according to his deeds?
13 Mwana wange olyanga omubisi gw’enjuki kubanga mulungi, omubisi oguva mu bisenge byagwo guwoomerera.
Eat honey, my son, for it is good, and the honeycomb is sweet to your taste.
14 Era manya nti amagezi gawoomera emmeeme yo, bw’onoogafuna onoobeera n’essuubi mu bulamu obw’omu maaso, n’essuubi lyo teririkoma.
Know therefore that wisdom is sweet to your soul. If you find it, there is a future for you, and your hope will never be cut off.
15 Toteeganga, ng’omunyazi bw’akola ku nnyumba y’omutuukirivu, tonyaganga maka ge.
Do not lie in wait, O wicked man, near the dwelling of the righteous; do not destroy his resting place.
16 Omuntu omutuukirivu ne bw’agwa emirundi omusanvu, addamu n’ayimuka, naye abakozi b’ebibi basuulibwa mu mitawaana.
For though a righteous man may fall seven times, he still gets up; but the wicked stumble in bad times.
17 Tosanyukanga ng’omulabe wo agudde, bwe yeesittalanga omutima gwo gulemenga okujaguza.
Do not gloat when your enemy falls, and do not let your heart rejoice when he stumbles,
18 Si kulwa nga Mukama akiraba ne kitamusanyusa, n’amusunguwalira.
or the LORD will see and disapprove, and turn His wrath away from him.
19 Teweeraliikiriranga olw’abo abakola ebibi, so abakozi b’ebibi tobakwatirwanga buggya.
Do not fret over evildoers, and do not be envious of the wicked.
20 Kubanga omuntu omubi talina ssuubi mu maaso, ettabaaza y’abakozi b’ebibi erizikizibwa.
For the evil man has no future; the lamp of the wicked will be extinguished.
21 Mwana wange otyanga Mukama, ne kabaka, era teweetabanga na bajeemu.
My son, fear the LORD and the king, and do not associate with the rebellious.
22 Kubanga obusungu bwabwe bulibuubuukira ku bajeemu era ani amaanyi akabi akalibatuukako?
For they will bring sudden destruction. Who knows what ruin they can bring?
23 Bino nabyo era bigambo by’abalina amagezi. Okwekubiira ng’osala emisango si kirungi.
These also are sayings of the wise: To show partiality in judgment is not good.
24 Kale oyo agamba azizza omusango nti, “Toliiko ky’ovunaanibwa,” abantu banaamukolimiranga, n’amawanga ganaamwetamwanga.
Whoever tells the guilty, “You are innocent”— peoples will curse him, and nations will denounce him;
25 Naye abo abasalira omusobya omusango ne gumusinga banaabanga n’essanyu, n’omukisa omulungi gulibatuukako.
but it will go well with those who convict the guilty, and rich blessing will come upon them.
26 Eky’okuddamu eky’amazima, kiri ng’okunywegerwa.
An honest answer given is like a kiss on the lips.
27 Malirizanga omulimu gwo ogw’ebweru, oteeketeeke ennimiro zo, n’oluvannyuma olyoke weezimbire ennyumba yo.
Complete your outdoor work and prepare your field; after that, you may build your house.
28 Towanga bujulizi bwa bulimba ku muliraanwa wo, so akamwa ko tekalimbanga.
Do not testify against your neighbor without cause, and do not deceive with your lips.
29 Toyogeranga nti, “Omuntu oyo ndimukola nga bw’ankoze, era ndimusasuza nga bw’ampisizza.”
Do not say, “I will do to him as he has done to me; I will repay the man according to his work.”
30 Nayita ku nnimiro ey’omugayaavu, ne mpita ne ku nnimiro y’emizabbibu ey’oyo atalina kutegeera.
I went past the field of a slacker and by the vineyard of a man lacking judgment.
31 Kale laba, ng’ennimiro eyo ebunye amaggwa, wansi wonna nga wabikkiddwa omuddo, n’olukomera lwayo olw’amayinja nga lugudde.
Thorns had grown up everywhere, thistles had covered the ground, and the stone wall was broken down.
32 Ne neekaliriza ne ntegeera ne nfuna ekyokuyiga mu bye nalaba.
I observed and took it to heart; I looked and received instruction:
33 Otulo otutonotono, n’okusumagira akatono, n’okufunya emikono okuwummulako,
A little sleep, a little slumber, a little folding of the hands to rest,
34 obwavu bulikutuukako ng’omutemu, era n’obwetaavu ng’omutemu.
and poverty will come upon you like a robber, and need like a bandit.

< Engero 24 >