< Engero 21 >
1 Omutima gwa kabaka guli ng’amazzi agakulukutira mu mukono gwa Mukama, era agukyusiza gy’ayagala yonna.
2 Buli kkubo lya muntu liba ng’ettuufu mu maaso ge, naye Mukama apima omutima.
3 Okukola ebituufu n’eby’amazima kisanyusa Mukama okusinga ssaddaaka.
4 Amaaso ageegulumiza, n’omutima ogw’amalala, ye ttabaaza y’ababi, era ebyo kwonoona.
5 Enteekateeka z’omunyiikivu zivaamu magoba meereere, naye okwanguyiriza okutalina nteekateeka kuvaamu bwavu.
6 Okufuna obugagga n’olulimi olulimba, mpewo buwewo etwalibwa eruuyi n’eruuyi era mutego gwa kufa.
7 Obukambwe bw’ababi bulibamalawo, kubanga bagaana okukola eby’ensonga.
8 Ekkubo ly’abazza emisango liba kyamu, naye ery’abataliiko musango liba golokofu.
9 Okusula ku kasolya k’ennyumba, kisinga okubeera mu nnyumba n’omukazi omuyombi.
10 Emmeeme y’omubi yeegomba okukola ebibi; talaga muliraanwa we kisa n’akatono.
11 Omukudaazi bw’abonerezebwa, atalina magezi agafuna; n’ow’amagezi bw’ayigirizibwa afuna okutegeera.
12 Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi, era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.
13 Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu, naye alikoowoola nga talina amwanukula.
14 Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi, n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.
15 Ensonga bwe zisalibwa mu bwenkanya, lye ssanyu eri abatuukirivu, naye kiba kyekango eri abakozi b’ebibi.
16 Omuntu awaba okuva mu kkubo ly’okutegeera, agukira mu bafu.
17 Aganza eby’amasanyu anaabanga mwavu, n’oyo ayagala omwenge n’amafuta taligaggawala.
18 Abakozi b’ebibi batuukibwako emitawaana egyandigudde ku balungi, n’ekyandituuse ku b’amazima kituuka ku batali beesigwa.
19 Okubeera mu ddungu, kisinga okubeera n’omukazi omuyombi anyiiganyiiga.
20 Mu nnyumba y’omutuukirivu mubaamu eby’obugagga eby’omuwendo, naye omusirusiru ebibye byonna abyonoona.
21 Agoberera obutuukirivu n’ekisa, alibeera n’obulamu obukulaakulana n’ekitiibwa.
22 Omuntu ow’amagezi alumba ekibuga eky’abazira nnamige, era n’asesebbula enfo yaabwe gye beesiga.
23 Afuga akamwa ke n’olulimi lwe, yeewoonya emitawaana.
24 “Mukudaazi,” lye linnya ly’ab’amalala abeeraga, abeetwalira mu kwemanya okw’ekitalo mwe batambulira.
25 Okwetaaga kw’omugayaavu lwe luliba olumbe lwe, kubanga emikono gye tegyagala kukola.
26 Olunaku lwonna aba yeegomba kweyongezaako, naye omutuukirivu agaba awatali kwebalira.
27 Ssaddaaka y’omubi ya muzizo, na ddala bw’agireeta ng’alina ekigendererwa ekitali kirungi.
28 Omujulizi ow’obulimba alizikirira, naye ekigambo ky’oyo ayogera eby’amazima kiribeerera emirembe gyonna.
29 Omuntu omubi yeekazaakaza, naye omuntu ow’amazima yeegendereza amakubo ge.
30 Tewali magezi, newaakubadde okutegeera, wadde ebiteeso ebiyinza okulemesa Mukama.
31 Embalaasi etegekerwa olunaku olw’olutalo, naye obuwanguzi buva eri Mukama.