< Engero 20 >

1 Omwenge mukudaazi, ekitamiiza muleekaanyi, era buli alaga mu kkubo ekyamu olw’ebyo talina magezi.
לֵץ הַיַּין הֹמֶה שֵׁכָר וְכָל־שֹׁגֶה בּוֹ לֹא יֶחְכָּֽם׃
2 Obusungu bwa kabaka buli ng’okuwuluguma kw’empologoma, n’oyo amusunguwaza yeefiiriza bulamu bwe.
נַהַם כַּכְּפִיר אֵימַת מֶלֶךְ מִתְעַבְּרוֹ חוֹטֵא נַפְשֽׁוֹ׃
3 Kya kitiibwa omuntu okwewala entalo, naye buli musirusiru ayagala okuyomba.
כָּבוֹד לָאִישׁ שֶׁבֶת מֵרִיב וְכָל־אֱוִיל יִתְגַּלָּֽע׃
4 Omugayaavu talima mu budde butuufu, kyanaavanga anoonya eby’amakungula nga talina kantu.
מֵחֹרֶף עָצֵל לֹא־יַחֲרֹשׁ ישאל וְשָׁאַל בַּקָּצִיר וָאָֽיִן׃
5 Ebigendererwa ebiba mu mutima gw’omuntu biba ng’amazzi ag’ebuziba, naye omuntu alina okutegeera alibiggyayo.
מַיִם עֲמֻקִּים עֵצָה בְלֶב־אִישׁ וְאִישׁ תְּבוּנָה יִדְלֶֽנָּה׃
6 Abantu bangi bagamba nti balina okwagala okutaggwaawo, naye ani ayinza okuzuula omuntu omwesigwa?
רָב־אָדָם יִקְרָא אִישׁ חַסְדּוֹ וְאִישׁ אֱמוּנִים מִי יִמְצָֽא׃
7 Omuntu omutuukirivu, atambulira mu bulamu obutaliiko kyakunenyezebwa; ba mukisa abaana be abalimuddira mu bigere.
מִתְהַלֵּךְ בְּתֻמּוֹ צַדִּיק אַשְׁרֵי בָנָיו אַחֲרָֽיו׃
8 Kabaka bw’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka ng’asala emisango, amaaso ge gasunsulamu ne gaggyamu ebibi byonna.
מֶלֶךְ יוֹשֵׁב עַל־כִּסֵּא־דִין מְזָרֶה בְעֵינָיו כָּל־רָֽע׃
9 Ani ayinza okugamba nti, “Ntukuzza omutima gwange, ndi mulongoofu era sirina kibi?”
מִֽי־יֹאמַר זִכִּיתִי לִבִּי טָהַרְתִּי מֵחַטָּאתִֽי׃
10 Ebipima obuzito ebitatuuka n’ebigera ebikyamu, byombi bya muzizo eri Mukama.
אֶבֶן וָאֶבֶן אֵיפָה וְאֵיפָה תּוֹעֲבַת יְהוָה גַּם־שְׁנֵיהֶֽם׃
11 Omuvubuka naye amanyibwa olw’ebikolwa bye, obanga birongoofu era nga birungi.
גַּם בְּמַעֲלָלָיו יִתְנַכֶּר־נָעַר אִם־זַךְ וְאִם־יָשָׁר פָּעֳלֽוֹ׃
12 Okutu okuwulira n’eriiso eriraba byombi Mukama ye y’abikola.
אֹזֶן שֹׁמַעַת וְעַיִן רֹאָה יְהוָה עָשָׂה גַם־שְׁנֵיהֶֽם׃
13 Toyagalanga kwebaka oleme kwavuwala, tunula, obeerenga n’ebyokulya bingi.
אַל־תֶּֽאֱהַב שֵׁנָה פֶּן־תִּוָּרֵשׁ פְּקַח עֵינֶיךָ שְֽׂבַֽע־לָֽחֶם׃
14 “Si kirungi, si kirungi,” bw’ayogera agula; naye bw’agenda n’alyoka yeenyumiririza mu ky’aguze.
רַע רַע יֹאמַר הַקּוֹנֶה וְאֹזֵל לוֹ אָז יִתְהַלָּֽל׃
15 Zaabu n’amayinja ag’omuwendo weebiri, naye emimwa egyogera eby’amagezi kye ky’omuwendo ekisingako.
יֵשׁ זָהָב וְרָב־פְּנִינִים וּכְלִי יְקָר שִׂפְתֵי־דָֽעַת׃
16 Omuntu bw’aleeta ekyambalo kye ne yeeyimiririra gw’atamanyi, kitwalire ddala, na ddala bw’abanga yeeyimiririra omukazi omubambaavu.
לְֽקַח־בִּגְדוֹ כִּי־עָרַב זָר וּבְעַד נכרים נָכְרִיָּה חַבְלֵֽהוּ׃
17 Emmere enfune mu bukyamu ewooma mu kulya, naye emufuukira amayinja mu kamwa.
עָרֵב לָאִישׁ לֶחֶם שָׁקֶר וְאַחַר יִמָּֽלֵא־פִיהוּ חָצָֽץ׃
18 Kola entegeka nga weebuuza ku magezi, bw’oba onoolangirira olutalo sooka weebuuze.
מַחֲשָׁבוֹת בְּעֵצָה תִכּוֹן וּבְתַחְבֻּלוֹת עֲשֵׂה מִלְחָמָֽה׃
19 Oyo agenda ng’asaasaanya olugambo abotola ebyama, noolwekyo weewale omuntu ayogerayogera ennyo ebitaliimu.
גּֽוֹלֶה־סּוֹד הוֹלֵךְ רָכִיל וּלְפֹתֶה שְׂפָתָיו לֹא תִתְעָרָֽב׃
20 Omuntu akolimira kitaawe oba nnyina, ettabaaza ye erizikizibwa n’asigala mu kizikiza ekikutte ennyo.
מְקַלֵּל אָבִיו וְאִמּוֹ יִֽדְעַךְ נֵרוֹ באישון בֶּאֱשׁוּן חֹֽשֶׁךְ׃
21 Eby’obusika ebifune ng’ekiseera kyabyo tekinnatuuka, ku nkomerero tebiba na mukisa.
נַחֲלָה מבחלת מְבֹהֶלֶת בָּרִאשֹׁנָה וְאַחֲרִיתָהּ לֹא תְבֹרָֽךְ׃
22 Toyogera nti, “Nzija kukusasula olw’ekibi kino!” Lindirira Mukama alikuyamba.
אַל־תֹּאמַר אֲשַׁלְּמָה־רָע קַוֵּה לַֽיהוָה וְיֹשַֽׁע לָֽךְ׃
23 Ebipima ebikyamu bya muzizo eri Mukama, ne minzaani ez’obulimba tezisanyusa.
תּוֹעֲבַת יְהוָה אֶבֶן וָאָבֶן וּמֹאזְנֵי מִרְמָה לֹא־טֽוֹב׃
24 Amakubo g’omuntu gategekebwa Mukama, omuntu ayinza atya okutegeera ekkubo lya Mukama?
מֵיהוָה מִצְעֲדֵי־גָבֶר וְאָדָם מַה־יָּבִין דַּרְכּֽוֹ׃
25 Kyambika eri omuntu okwanguyiriza okweyama eri Mukama, naye oluvannyuma n’afumiitiriza ku bye yeeyamye.
מוֹקֵשׁ אָדָם יָלַע קֹדֶשׁ וְאַחַר נְדָרִים לְבַקֵּֽר׃
26 Kabaka omugezi asengejja n’aggyamu abakozi b’ebibi, n’ababonereza awatali kusaasira.
מְזָרֶה רְשָׁעִים מֶלֶךְ חָכָם וַיָּשֶׁב עֲלֵיהֶם אוֹפָֽן׃
27 Ettabaaza ya Mukama ekebera omwoyo gw’omuntu, n’enoonya mu bitundu eby’omunda ennyo.
נֵר יְהוָה נִשְׁמַת אָדָם חֹפֵשׂ כָּל־חַדְרֵי־בָֽטֶן׃
28 Okwagala n’obwesigwa bikuuma kabaka mu butebenkevu, era obufuzi bwe bunywezebwa na kwagala.
חֶסֶד וֶאֱמֶת יִצְּרוּ־מֶלֶךְ וְסָעַד בַּחֶסֶד כִּסְאֽוֹ׃
29 Amaanyi kye kitiibwa ky’abavubuka, envi kye kitiibwa ky’abakadde.
תִּפְאֶרֶת בַּחוּרִים כֹּחָם וַהֲדַר זְקֵנִים שֵׂיבָֽה׃
30 Emiggo n’ebiwundu biggyawo ebibi, n’embooko zitereeza ebifo eby’omunda ennyo.
חַבֻּרוֹת פֶּצַע תמריק תַּמְרוּק בְּרָע וּמַכּוֹת חַדְרֵי־בָֽטֶן׃

< Engero 20 >