< Engero 2 >

1 Mwana wange, bw’onookwatanga ebigambo byange, n’otereka ebiragiro byange mu bulamu bwo,
My son, if you accept my words and hide my commandments within you,
2 era n’ossaayo omwoyo eri amagezi, era n’ossa omutima gwo eri okutegeera,
if you incline your ear to wisdom and direct your heart to understanding,
3 ddala ddala singa oyaayaanira okumanya era n’oyimusa eddoboozi lyo osabe okutegeera,
if you truly call out to insight and lift your voice to understanding,
4 bw’onooganoonyanga nga ffeeza, era n’oganoonyanga ng’ekyobugagga ekyakwekebwa,
if you seek it like silver and search it out like hidden treasure,
5 awo w’olitegeerera okutya Mukama, era n’ovumbula okumanya Katonda.
then you will discern the fear of the LORD and discover the knowledge of God.
6 Kubanga Mukama awa amagezi; era mu kamwa ke muvaamu okumanya n’okutegeera.
For the LORD gives wisdom; from His mouth come knowledge and understanding.
7 Mukama aterekera abatuukirivu amagezi amalungi, era aba ngabo y’abo abatambulira mu bugolokofu.
He stores up sound wisdom for the upright; He is a shield to those who walk with integrity,
8 Abatambuliza mu makubo ag’obwenkanya, era bw’atyo Mukama akuuma ekkubo ly’abatukuvu be.
to guard the paths of justice and protect the way of His saints.
9 Olwo lw’olitegeera obutuukirivu, amazima n’obwenkanya; weewaawo buli kkubo eddungi.
Then you will discern righteousness and justice and equity—every good path.
10 Kubanga amagezi galiyingira mu mutima gwo, n’okumanya kulisanyusa omwoyo gwo.
For wisdom will enter your heart, and knowledge will delight your soul.
11 Okwesalirawo obulungi kunaakulabiriranga n’okutegeera kunaakukuumanga:
Discretion will watch over you, and understanding will guard you,
12 Amagezi ganaakuwonyanga ekkubo ly’omubi, n’abantu aboogera eby’obugwagwa,
to deliver you from the way of evil, from the man who speaks perversity,
13 abaleka amakubo ag’obutuukirivu ne batambulira mu makubo ag’ekizikiza,
from those who leave the straight paths to walk in the ways of darkness,
14 abasanyukira okukola ebikolwa ebibi, abanyumirwa eby’obusirusiru,
from those who enjoy doing evil and rejoice in the twistedness of evil,
15 abantu abo be b’amakubo amakyamu, era abakujjukujju mu ngeri zaabwe.
whose paths are crooked and whose ways are devious.
16 Amagezi Mukama g’awa ge gokka agajja okukuwonya ekkubo ly’omukazi omwenzi, n’okukuwonya ebigambo bye ebisendasenda,
It will rescue you from the forbidden woman, from the stranger with seductive words
17 eyaleka bba ow’omu buvubuka bwe era eyeerabira endagaano gye yakola mu maaso ga Katonda we.
who abandons the partner of her youth and forgets the covenant of her God.
18 Kubanga ennyumba ye ekka mu kufa, n’amakubo ge galaga eri abafu.
For her house sinks down to death, and her tracks to the departed spirits.
19 Tewali n’omu agenda ewuwe adda wadde okufunirayo amakubo g’obulamu.
None who go to her return or negotiate the paths of life.
20 Kale tambuliranga mu kkubo ly’abo abatya Katonda era onywerere mu makubo g’abatuukirivu.
So you will follow in the ways of the good, and keep to the paths of the righteous.
21 Kubanga abatuukirivu balituula mu nsi, era abo abagolokofu baligisigalamu.
For the upright will inhabit the land, and the blameless will remain in it;
22 Naye abakozi b’ebibi balifiirwa ebirungi eby’ensi, n’abatali beesigwa balizikirizibwa.
but the wicked will be cut off from the land, and the unfaithful will be uprooted.

< Engero 2 >