< Engero 18 >

1 Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka, era tawuliriza magezi gamuweebwa.
A man who isolates himself pursues selfishness, and defies all sound judgment.
2 Omusirusiru tasanyukira kutegeera, ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
A fool has no delight in understanding, but only in revealing his own opinion.
3 Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako, era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
When wickedness comes, contempt also comes, and with shame comes disgrace.
4 Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba, naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
The words of a man’s mouth are like deep waters. The fountain of wisdom is like a flowing brook.
5 Si kirungi kuttira mubi ku liiso, oba okusaliriza omutuukirivu.
To be partial to the faces of the wicked is not good, nor to deprive the innocent of justice.
6 Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
A fool’s lips come into strife, and his mouth invites beatings.
7 Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira, era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.
A fool’s mouth is his destruction, and his lips are a snare to his soul.
8 Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera, bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
The words of a gossip are like dainty morsels: they go down into a person’s innermost parts.
9 Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola, waluganda n’oyo azikiriza.
One who is slack in his work is brother to him who is a master of destruction.
10 Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi, omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
The LORD’s name is a strong tower: the righteous run to him, and are safe.
11 Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi, era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
The rich man’s wealth is his strong city, like an unscalable wall in his own imagination.
12 Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
Before destruction the heart of man is proud, but before honor is humility.
13 Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza, buba busirusiru bwe era buswavu.
He who answers before he hears, that is folly and shame to him.
14 Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde, naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
A man’s spirit will sustain him in sickness, but a crushed spirit, who can bear?
15 Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya, amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
The heart of the discerning gets knowledge. The ear of the wise seeks knowledge.
16 Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza, era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
A man’s gift makes room for him, and brings him before great men.
17 Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu, okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
He who pleads his cause first seems right— until another comes and questions him.
18 Okukuba akalulu kimalawo empaka, era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
The lot settles disputes, and keeps strong ones apart.
19 Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize, era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
A brother offended is more difficult than a fortified city. Disputes are like the bars of a fortress.
20 Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke; ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
A man’s stomach is filled with the fruit of his mouth. With the harvest of his lips he is satisfied.
21 Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta, era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
Death and life are in the power of the tongue; those who love it will eat its fruit.
22 Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi, era aganja eri Mukama.
Whoever finds a wife finds a good thing, and obtains favor of the LORD.
23 Omwavu yeegayirira, naye omugagga addamu na bbogo.
The poor plead for mercy, but the rich answer harshly.
24 Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira, naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
A man of many companions may be ruined, but there is a friend who sticks closer than a brother.

< Engero 18 >