< Engero 16 >

1 Omuntu ateekateeka by’ayagala okukola mu mutima gwe, Naye okuddamu kuva eri Mukama.
心中的謀算在乎人; 舌頭的應對由於耶和華。
2 Amakubo g’omuntu gonna gaba matuufu mu maaso ge ye, naye Mukama y’apima ebigendererwa.
人一切所行的,在自己眼中看為清潔; 惟有耶和華衡量人心。
3 Emirimu gyo gyonna gikwasenga Mukama, naye anaatuukirizanga entegeka zo.
你所做的,要交託耶和華, 你所謀的,就必成立。
4 Mukama buli kimu akikola ng’alina ekigendererwa, n’abakozi b’ebibi y’abakolera olunaku lwe batuukibwako ebizibu.
耶和華所造的,各適其用; 就是惡人也為禍患的日子所造。
5 Buli muntu alina omutima ogw’amalala wa muzizo eri Mukama; weewaawo talirema kubonerezebwa.
凡心裏驕傲的,為耶和華所憎惡; 雖然連手,他必不免受罰。
6 Olw’okwagala n’olw’obwesigwa, ekibi kisasulibwa, n’okutya Mukama kuleetera omuntu okwewala okukola ebibi.
因憐憫誠實,罪孽得贖; 敬畏耶和華的,遠離惡事。
7 Amakubo g’omuntu bwe gaba gasanyusa Mukama, aleetera abalabe b’omuntu oyo okubeera naye mu mirembe.
人所行的,若蒙耶和華喜悅, 耶和華也使他的仇敵與他和好。
8 Akatono akafune mu butuukirivu, kasinga obugagga obungi obufune mu bukyamu.
多有財利,行事不義, 不如少有財利,行事公義。
9 Omutima gw’omuntu guteekateeka ekkubo lye, naye Mukama y’aluŋŋamya bw’anaatambula.
人心籌算自己的道路; 惟耶和華指引他的腳步。
10 Kabaka ky’ayogera kiba ng’ekiva eri Katonda, n’akamwa ke tekasaanye kwogera bitali bya bwenkanya.
王的嘴中有神語, 審判之時,他的口必不差錯。
11 Ebipimo ne minzaani ebituufu bya Mukama, ebipimo byonna ebikozesebwa y’abikola.
公道的天平和秤都屬耶和華; 囊中一切法碼都為他所定。
12 Kya muzizo bakabaka okukola ebibi, kubanga entebe ye ey’obwakabaka enywezebwa butuukirivu.
作惡,為王所憎惡, 因國位是靠公義堅立。
13 Akamwa akogera eby’amazima bakabaka ke basanyukira, era baagala oyo ayogera amazima.
公義的嘴為王所喜悅; 說正直話的,為王所喜愛。
14 Obusungu bwa kabaka buli ng’ababaka abaleese okufa, omusajja ow’amagezi alibukkakkanya.
王的震怒如殺人的使者; 但智慧人能止息王怒。
15 Kabaka bw’asanyuka kireeta obulamu; n’okuganza kwe, kuli nga ekire eky’enkuba mu biseera ebya ttoggo.
王的臉光使人有生命; 王的恩典好像春雲時雨。
16 Okufuna amagezi nga kusinga nnyo okufuna zaabu, era n’okufuna okutegeera kikira ffeeza!
得智慧勝似得金子; 選聰明強如選銀子。
17 Ekkubo ly’abagolokofu kwe kwewala ebibi, n’oyo eyeekuuma mu kutambula kwe, awonya emmeeme ye.
正直人的道是遠離惡事; 謹守己路的,是保全性命。
18 Amalala gakulembera okuzikirira, n’omwoyo ogwegulumiza gukulembera ekigwo.
驕傲在敗壞以先; 狂心在跌倒之前。
19 Okubeera n’omwoyo ogwetoowaza era n’okubeera n’abaavu, kisinga okugabana omunyago n’ab’amalala.
心裏謙卑與窮乏人來往, 強如將擄物與驕傲人同分。
20 Oyo assaayo omwoyo ku kuyigirizibwa alikulaakulana, era alina omukisa oyo eyeesiga Mukama.
謹守訓言的,必得好處; 倚靠耶和華的,便為有福。
21 Abalina emitima egy’amagezi baliyitibwa bategeevu, n’enjogera ennungi eyongera okuyamba okutegeera.
心中有智慧,必稱為通達人; 嘴中的甜言,加增人的學問。
22 Amagezi nsulo ya bulamu eri oyo agalina, naye obusirusiru buleetera abasirusiru okubonerezebwa.
人有智慧就有生命的泉源; 愚昧人必被愚昧懲治。
23 Omutima gw’omuntu ow’amagezi gumuwa enjogera ennungi, era akamwa ke kayigiriza abalala.
智慧人的心教訓他的口, 又使他的嘴增長學問。
24 Ebigambo ebirungi biri ng’ebisenge by’omubisi gw’enjuki, biwoomera emmeeme, ne biwonya n’amagumba.
良言如同蜂房, 使心覺甘甜,使骨得醫治。
25 Wabaawo ekkubo erirabika ng’ettuufu eri omuntu, naye ku nkomerero limutuusa mu kufa.
有一條路,人以為正, 至終成為死亡之路。
26 Okwagala okulya kuleetera omuntu okukola n’amaanyi, kubanga enjala emukubiriza okweyongera okukola.
勞力人的胃口使他勞力, 因為他的口腹催逼他。
27 Omuntu omusirusiru ategeka okukola ebitali bya butuukirivu, era n’ebigambo bye, biri ng’omuliro ogwokya ennyo.
匪徒圖謀奸惡, 嘴上彷彿有燒焦的火。
28 Omuntu omubambaavu asiikuula entalo, n’ow’olugambo ayawukanya ab’omukwano enfirabulago.
乖僻人播散紛爭; 傳舌的,離間密友。
29 Omuntu omukyamu asendasenda muliraanwa we n’amutwala mu kkubo eritali ttuufu.
強暴人誘惑鄰舍, 領他走不善之道。
30 Omuntu atemya ku liiso ateekateeka kwonoona, n’oyo asongoza emimwa ategeka kukola bitali birungi.
眼目緊合的,圖謀乖僻; 嘴唇緊閉的,成就邪惡。
31 Omutwe ogw’envi ngule ya kitiibwa, gufunibwa abo abatambulira mu bulamu obutuukirivu.
白髮是榮耀的冠冕, 在公義的道上必能得着。
32 Omuntu omugumiikiriza asinga omutabaazi, n’oyo afuga obusungu bwe akira awamba ekibuga.
不輕易發怒的,勝過勇士; 治服己心的,強如取城。
33 Akalulu kayinza okukubibwa, naye okusalawo kwa byonna kuva eri Mukama.
籤放在懷裏, 定事由耶和華。

< Engero 16 >